TOP

Tamale Mirundi asattira

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2017

Tamale Mirundi asattira

Mab1 703x422

Tamale Mirundi

Omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’amawulire, Joseph Tamale Mirundi asattira olw’abasajja b’alumiriza okugezaako okuwamba mukazi we. Mirundi yagambye nti omusajja omu yakwatiddwa ng’ono aludde ng’akubira mukazi we essimu ng’amugamba ebintu by’atategeera.

Yagambye nti mukyala we Florence Namayanja yamutegeeza ku musajja ono n’atandika okumuketta. Mirundi yalumirizza nti omusajja ono, gw’ataayogedde mannya amaze ennaku nnya ng’akozesa layini y’essimu emu gye yagaanye okwogera kyokka n’agamba nti, “omusajja ono mwavu nnyo nga n’essimu gy’akozesa bwe buno bu katooki nga ne layini ye si mpandiise era yandiba omu ku batta abakazi mu bitundu by’e Ntebe. Omusajja ono yasooka kutegeeza mukyala wange nga bwe yamwagalako nti era aludde okumulaba. Yamutegeeza nga bw’amusuza ng’akukunadde nti era ayagala basisinkane awantu amugulire ekyemisana.

Ku Lwomukaaga omusajja yatuuka n’okusindikira mukyala wange 15,000/-. Bwe yava awo n’amutegeeza bw’ ayagala okumukuba empeta n’ebyenda bimwetokote ate bwe yava awo n’amugamba nti yasomako naye mu siniya, kyokka nga mukyala wange mu kusoma kwe teyatuuka mu siniya. Yakubira omukyala n’amusaba basisinkane ku lidda e Nansana ne nkwata emmome,” Tamale bwe yayogedde mu kutya.

Yakukkulumidde Poliisi nti terina ky’emuyambye so nga n’abamu beefuula mikwano gye. Wabula yagambye nti ye si mwangu era talina ky’atidde kuba bangi ababadde bamwerippako ne bamuvaako bukumbu. Wabula abamu ku b’ebyokwerinda bateebereza nti omusajja eyakwatiddwa yandiba nga yabadde agezaako kuganza mukazi wa Mirundi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jip2 220x290

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa...

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

Mo2 220x290

Aba poliisi 300 babanguddwa

Aba poliisi 300 babanguddwa

Jo2 220x290

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko...

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko

Got2 220x290

Akulira ekibinja ekitta aba boda...

Akulira ekibinja ekitta aba boda boda naye bamukutte

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu