TOP

Ab'e Bugerere bagobeddwa ku ttaka ly'essaza

By Saul Wokulira

Added 30th September 2017

ABANTU okuva mu famile ezisoba mu 30 abatuuze ku ttaka ly'embuga y'essaza lya Bugerere amaziga ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lw'okubagoba ku ttaka lino.

Mugerere1 703x422

Bya Saul Wokulira

ABANTU okuva mu famire ezisoba mu 30 abatuuze ku ttaka ly'embuga y'essaza lya Bugerere amaziga ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lw'okubagoba ku ttaka lino.     

Omwami ow'essaza Mugerere James Ssempiga y'anaabidde bano mu maaso nga agamba nti beesenza ku ttaka lino mu bukyamu.    

Mugerere Ssempigga ayungudde ekibinja ky'abavubuka ne basaawa emmere y'abatuuze n'okwonoona ebintu ebirala.     

 mmere esaayiddwa nebinnya bya ayinja ebisimiddwa Emmere esaayiddwa, n'ebinnya bya Kayinja ebisimiddwa

 

Basimye ebinnya era okusinziira Mugerere bagenda kusimbamu ebitooke bya kayinja kubanga omubisi n'omwenge omuganda bya ttunzi mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga ebirala.     

Mugerere Ssempigga agamba nti bano beesenza ku ttaka lino mu bukyamu.     Wabula abagobeddwa balaajanidde abakulu e Mengo babataase kubanga ku ttaka lino batuddeko mu butuufu.    

Omu ku bagobeddwa ye hajat Sumini Nabayozi agambye nti ebibanja byabwe byonna baabiwandiisa mu Buganda Land Board era ne bafuna amabaluwa agakakasa obusenze ku ttaka lino.     

Empya zaabwe ne mu mayumba agatanaggwa basimyemu ebinnya mwe bagenda okusimba kayinja.

 ugerere Mugerere Ssempigga

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye