TOP

Abawakanya emyaka baleese pulaani empya

By Hannington Nkalubo

Added 30th September 2017

Etteeka liragira nti ssinga wabeerawo embeera yonna eyeetaagisa okukwasisa amateeka, obuvunaanyizibwa obwo bukolebwa ‘Sergeant at Arms.’ Sipiika yabadde ateekwa kulagira oyo n’afulumya ababaka bwe kiba kyabadde kimususseeko.

Babakacid1 703x422

Abamu ku babaka abaayitiddwa ku kitebe kya bambega e kibuli. Wano nga baakafulumayo.

Bya HANNINGTON NKALUBO ne KIZITO MUSOKE

Abawakanya okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bakoze pulaani empya ey’okulemesa okukyusa Ssemateeka. Mu pulaani eno mulimu okwekubira enduulu mu Kkooti.

Ttiimu ya balooya okuli Medard Lubega Segona etapuse amateeka ne beekwata ennyingo eyookubiri eya Ssemateeka egamba nti tewali kiragiro oba omuntu yenna kiri waggulu wa Ssemateeka.

Mu nnyingo eno, amateeka agafuga Palamenti gaanywezebwa mu Ssemateeka.

Wano we basinzidde okugamba nti Sipiika, Rebecca Kadaga bwe yayimirizza ababaka 25 ku Lwokusatu yamenye etteeka ekkulu erya Palamenti erigamba nti ababaka okuyimirizibwa Palamenti eba erina okwabuka, ekibonerezo ne bakitandika n’olutuula oluddako.

Seggona yagambye nti Sipiika bwe yagobye ababaka, Palamenti yazzeemu n’etuula ku lunaku lwe lumu.

Era kino kye yabadde ayagala okuwabula kyokka n’atawulirizibwa. “Sipiika obutagoberera mateeka, kyalese tewali amanyi ddi babaka abaayimiriziddwa lwe balina okukomawo kubanga baayimiriziddwa kuva ddi?”, bwe yeebuuzizza.

Ekirala bagamba nti mu bwenkanya, Sipiika yandisoose kusindika babaka mu kakiiko akakwasisa empisa ne beewozaako, ekintu ekitaakoleddwa. Ku Lwokusatu, Sipiika yayimirizza ababaka 25 ng’abavunaana okukola effujjo mu Palamenti ku Lwokubiri nga bawakanya ekiteeso ekiggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ababaka baajeemedde Sipiika okufuluma Palamenti, ekyazzeeko be baserikale okuyingira Palamenti ne balwana n’abawakanya ekiteeso okubafulumya.

Omubaka Raphael Magyezi yaweereddwa omukisa okwanjula ekiteeso era ne kikkirizibwa. Abawakanya bagattako nti, kyabadde kikyamu kuba Palamenti etambulira ku nkola y’ebibiina ebingi, okugenda mu maaso kuba Sipiika bwe yagobye ababaka 25, ate abalala bonna abooludda oluvuganya nabo baafulumye.

Ekitegeeza nti ekiteeso kyaleeteddwa nga Palamenti erimu ba NRM bokka. Kyokka kino omwogezi wa Gavumenti akiwakanyizza nti Palamenti esobola okuteesa ssinga eba eweza omuwendo ogw’essalira, tesinziira ku muwendo gw’ababaka abavuganya.

Nobert Mao, Pulezidenti wa DP era nga munnamateeka, naye yagambye nti etteeka nnamba 67 akatundu 4 ligamba nti okubonereza omubaka wa Palamenti yenna amenye amateeka tekikolebwa ku lunaku olwo Sipiika lw’amenye amannya ge.

Yagambye nti sipiika yabadde ateekwa okusindika ababaka bano mu kakiiko akakwasisa empisa kyokka teyakikoze.

Yannyonnyodde nti Sipiika yakoze nsobi okukkiriza abaserikale abatalina kifo kyonna mu Palamenti ne batuukira ddala mu kifo ababaka gye bateeseza. Kino tekikkirizibwa mu mateeka.

Etteeka liragira nti ssinga wabeerawo embeera yonna eyeetaagisa okukwasisa amateeka, obuvunaanyizibwa obwo bukolebwa ‘Sergeant at Arms.’ Sipiika yabadde ateekwa kulagira oyo n’afulumya ababaka bwe kiba kyabadde kimususseeko.

Kyokka kino, Gen. Kale Kayihura yabadde amaze okukitangaaza nti ‘Sergeant at Arms’ asobola okuyambibwako bwe kiba kyetaagisizza kubanga emirimu tagikola yekka wabula n’ebitongole bya Gavumenti ebirala ebivunaanyizibwa ku butebenkevu.

 

LUKWAGO ATANGAAZIZZA

Loodimeeya, Erias Lukwago naye ali ku ttiimu ya bannamateeka bano, yagambye nti ensonga esookerwaako okulabibwa n’atamanyi kutaputa mateeka ya bannamagye okuzinda Palamenti.

Yagambye nti abaserikale buli muntu yabalabye mu Palamenti nga bazingako ababaka era ekiteeso kyayisiddwa ng’ababaka ku ludda oluvuganya n’abamu ku ba NRM bakwatiddwa.

Ababaka baafulumiziddwa ku mpaka ate nga bafulumizibwa abaserikale abatakkirizibwa kubeera mu Palamenti.

Lukwago yategeezezza nti Sipiika Kadaga kye yakoze okukyusakyusa ebiteeso ebyabadde bissiddwa ku lupapula biteesebweko ebimu nga tebiriiko, nakyo kiyimirirawo ng’ensonga nti waabaddewo olukwe olutali mu mateeka. Yagambye nti obuyinza bwe yakozesezza ku babaka ba Palamenti kyabadde kiraga kirala ku kiteeso kino.

Yagambye nti olunaku lwe yabagobye mu Palamenti yabadde ateekwa kubasindika mu kakiiko akakwasisa empisa basooke banoonyerezebweeko. Yagasseeko nti embeera yonna eyabaddewo baagitunuulidde nga teyagoberedde mateeka era omusango gugenda kubanguyira okuwangula.

Yategeezezza nti ekiyinza okugukalubya y’ensonga ya kkooti kubanga Gavumenti eyinza okugiyingirira n’ebasimbira ekkuuli kyokka nakyo tebakitidde.

Yalabudde ababaka abaayisizza ekiteeso kino nti basooke balindeko okujaganya kuba nabo ng’abamanyi amateeka tebatudde.

N’agamba nti omusango guno gugenda kuba gwa byafaayo kuba bannamateeka abakugu ate nga bangi bagenda kugwetabamu era kkooti zigenda kukubako nga bwe kibadde mu Palamenti okukakasa nti Ssemateeka akuumibwa bulungi.

Fred Mukasa Mbidde yagambye nti byonna ebyakoleddwa mu Palamenti byabadde bimenya mateeka okusinziira ku mitendera egiragibwa okuyitamu okukyusa akawaayiro konna mu Ssemateeka w’eggwanga.

Yategeezezza nti okukyusa Ssemateeka ababaka ku njuyi zonna bateekwa okubeerawo mu Palamenti kyokka abatuula ku ludda oluvuganya gavumenti baakwatiddwa.

Tebasobola kwesigama ku ludda lwa Gavumenti lwokka okukola ennongoosereza mu Ssemateeka. Yagambye nti Ssemateeka tamala gakyusibwa nga tewali wadde entegeka egobererwa ng’ababaka bonna bakkiriziganyizza ku biteesebwa.

Ekiteeso baakitegeeredde awo kubanga tekyabadde ku lukalala lwa birina kuteesebwako.

Agattako nti Palamenti yabaddemu ekibinja ky’abantu abatamanyiddwa (abaserikale) abaakutte ababaka ekikakasa nti byonna ebyagenze mu maaso ku lunaku olwo biteekwa okuddibwamu. Yagambye nti entegeka z’okuwakanya ebyasaliddwaawo Palamenti naddala ekiteeso kya Raphael Magyezi baagitandise dda. “

Tugenda kuwandiikira Sipiika mu butongole tumulage byonna ebyasobye nga bamwanjulira ekiteeso ky’okukyusa ekkomo ku myaka gya Pulezidenti era tumusabe abisazeemu,” Mbidde bwe yagambye.

NRM ERAZE BWE YEETEGESE

Dr. Chris Baryomunsi, akola nga omwogezi wa Gavumenti yagambye nti etteeka teririna we lyogerera ku kya babaka ba bibiina eby’enjawulo okubaawo mu Palamenti, ekiteeso kyonna okusobola okwanjulwa.

Etteeka lyogera ku kya kubeera na muwendo gwa ssalira ogw’ababaka (quorum). Abawakanya balina kuleeta nsonga ekakasa nti omuwendo gw’ababaka gwabadde teguwera. Kyokka yabasiimye olw’okuba nti bakirabye nti ensonga basobola okugigonjoola nga bakozesa mateeka okusinga okulowooza nti balina kukozesa lyanyi okulemesa amateeka okukola.

Yagambye nti omusango guno bajja kuguwangula, kuba ebintu byonna byakoleddwa nga bagoberera amateeka g’eggwanga.

Gaster Mugoya Kyawa (Bukooli North/ NRM) nga munnamateeka owa kkampuni ya Mugoya Kyawa and Company Adovcates yagambye nti okuggyako ng’abawakanya baakoze amateeka agaabwe, naye kye bawakanya tekiriiyo.

Okwanjula ekiteeso mu mateeka tekyetaagisa bibiina byonna kukiikirirwa, kuba tewaabadde kukuba kalulu. Yagambye nti tewali ngeri Palamenti gye yabadde eyinza kuyimiriza mirimu olw’okuba ababaka abatono bagaanyi abangi okuyisa ekiteeso.

Yategeezezza nti olw’okuba ababaka ba NRM basukka 300 nga balina n’abatalina bibiina, y’ensonga lwaki baabadde basazeewo okukozesa eryanyi kyokka ne babatebuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...