TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen.Katumba Wamala ayogedde lwaki yakubye omubaka Zaake

Gen.Katumba Wamala ayogedde lwaki yakubye omubaka Zaake

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2017

GEN. Katumba Wamala ayogedde ku mbeera mwe yalabikidde mu Palamenti ng’afunyizza ekikonde n’agamba nti, teyakubye mubaka Francis Zzaake owa Mityana Munisipaali kikonde wabula yabadde amwetaasaako kuba omubaka ono yabadde ataamye ng’akuba buli amusala mu maaso. Katumba yannyonnyodde nti: Bwe nnalabye ababaka nga bataamye ng’omuzadde nnasituse ne ngezaako okubakkakkanya.

Bikonde1 703x422

Katumba Wamala nga yeetaasaako omubaka Zaake eyabadde ataamye ng’akuba buli amusala mu maaso.

Bya BASASI BAFFE

GEN. Katumba Wamala ayogedde ku mbeera mwe yalabikidde mu Palamenti ng’afunyizza ekikonde n’agamba nti, teyakubye mubaka Francis Zzaake owa Mityana Munisipaali kikonde wabula yabadde amwetaasaako kuba omubaka ono yabadde ataamye ng’akuba buli amusala mu maaso. Katumba yannyonnyodde nti: Bwe nnalabye ababaka nga bataamye ng’omuzadde nnasituse ne ngezaako okubakkakkanya.

Obwedda abasinga mbayita amannya nga bwe mbegayirira obutalwana, nga tebampuliriza, banziramu kimu nti: Tuleke Genero.

Olw’okuba nnabadde mbeegayirira, omubaka Zaake alabika yalowoozezza nti, ndi munafu kwe kuvaayo n’anfunyiza ekikonde ng’ayagala kunkuba.

Nnamulabuukiridde ne nfunya ekikonde, omukono ne nguzizika mu maaso ge okumuziyiza okuntuukako.

Kyokka omubaka Zaake yakozesezza amaanyi n’ansika nange ne nguguba okutuusa bwe yakkiridde wansi.

Abamu ku baabaddewo okuli n’omubaka Fungaroo Kaps Hassan (FDC) baasoose kutegeeza nti Gen. Katumba yakubye Zaake ekikonde ekyamutalantusizza n’agwa ku ttaka era we kyakubye ne wasigalawo n’ekiwundu!

Wabula Katumba yagambye nti yeewaze okukuba Zaake kubanga amulaba nga mutabani we era obwedda afuba kumukkakkanya kyokka nga tamuwuliriza era kwe kusalawo okumuziyiza ng’azizikayo emikono.

Omubaka Guster Mugoya (NRM) eyabaddewo yagambye nti Katumba mu kukkakkanya ababaka, Zaake yasitudde ekyuma ekibeerako obuzindaalo bwa Palamenti n’agezaako okukikuba Katumba era nga munnamagye omutendeke ne yeerwanako ng’assaayo emikono.

 atumba amala awanise emikono ngagezaako okukkakkanya ababaka mu alamenti Katumba Wamala( awanise emikono) ng’agezaako okukkakkanya ababaka mu Palamenti.

 

Yayongeddeko nti: Ekyuma omubaka Zaake kye yabadde akutte yabadde agezaako kukikuba mu mutwe gwa Katumba era musajja wattu taba kukozesa bukodyo kwerwanako, tetumanyi mbeera mwe yandibadde kati!

Yayongeddeko nti: Mba kuba nga nsazeewo kulwanyisa mubaka Zaake nandibadde simukuba kikonde kimu nandimufukiridde ebiwerako, kubanga mu butendeke bwaffe bw’otandika okukuba ebikonde tokuba kimu.

Zaake akyajjanjabwa mu ddwaaliro e Lubaga wabula ebyamutuuseeko tabinenyeza Katumba, abissa ku baserikale abaayiiriddwa mu Palamenti.

Gen. Katumba ye Minisita omubeezi ow’enguudo kyokka nga tannaweebwa kifo kino yasooka kubeera muduumizi w’amagye ga UPDF era yali omuduumizi wa poliisi.

Ababaka Katumba be yabadde akkakkanya kwabaddeko ne Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, Allan Ssewannyana, era baategeezezza nti wadde bamussaamu nnyo ekitiibwa wabula ekyabagaanye okumuwuliriza kwe kuba nga buli obwedda lw’ajja okubakkakkanya ng’emabega we kujjirako abaserikale abaabadde basindikiddwa okubakwata okubafulumya Palamenti.

Ku mbeera eyabadde mu Palamenti, Gen. Katumba yagambye nti, yabadde ya buswavu eri eggwanga lyonna kuba ‘Bahonalebo’ balina embeera eweesa ekitiibwa gye basuubirwa okweyisaamu eteri ya bantu balala.

Yagambye nti bw’obeera mu Palamenti, Sipiika y’aba n’obuyinza obw’enkomeredde era kikukakatako okumuwuliriza n’okugondera by’aba alagidde ne bw’oba nga tokkaanya nabyo.

 zaake ngalumba atumba  ku ddyo Zzaake ng’alumba Katumba ( ku ddyo).

 

Yayongeddeko nti: Bannaffe bandirinze ekiteeso ne bakyanja ne bakyekaliriza era ekiseera eky’okukikubaganyaako ebirowoozo nga kituuse; ne bakozesa omukisa ogwo okukikubamu ebituli so si kukozesa lyanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...