TOP

Kiwanda ne Nabakooba basimattuse okugajambulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2017

Kiwanda ne Nabakooba basimattuse okugajambulwa

Him2 703x422

Judith Nabakooba omukyala owa Mityana Disitulikiti

POLIISI eyongedde eryanyi ku bantu abeesomye okulumbagana ababaka ba Palamenti olw’endowooza zaabwe ku kiteeso ky’okuggyawo ekkomo ku myaka gy’Obwapulezidenti.

Balaalise okukwata buli muntu anaakozesa effujjo ku mubaka yenna era ne bassaawo n’obukuumi obw’enjawulo ku babaka abalina okutiisibwatiisibwa. Omumyuka w’omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti bafunye lipoota eziwerako ku bantu naddala abavubuka abagezaako okulumba ababaka era nga kino kyatandikira ku William Ntege (Kyuma kya Yesu) eyalumba omubaka Simeo Nsubuga ku mukolo gwa Kabaka e Mubende ne wabaawo akanyoolagano.

Namaye yagambye nti ababaka ababatuukiridde babayambye okubawa abakuumi (VIPPU) kyokka kati amaanyi bagazzizza ku kukwata abantu abakozesa effujjo ku babaka mu kifo ky’okubatikka ebirowoozo byabwe. Ku nkomerero ya wiiki ewedde, Minisita Godfrey Kiwanda (Mityana North) n’omubaka omukyala owa Mityana, Judith Nabakooba baalumbiddwa abantu abaabadde bagezaako okukola effujjo ku mukolo gw’okutongoza oluguudo ogwabadde gutegekeddwa e Mityana.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana, Joseph Luzige yategeezezza Bukedde nti ebyatuuse ku Kiwanda ne Nabakooba terwabadde lukwe lupange wabula abavubuka baakikoze ku lwabwe. Luzige okuvaayo, kiddiridde omubaka Judith Nabakooba okulumiriza nti waliwo Bannabyabufuzi abaawadde abavubuka abo ssente okubakolako effujjo n’asaba Poliisi y’e Mityana okuyigga mu bwangu abavubuka abo bavunaanibwe.

Effujjo lyakoleddwa ku mukolo ogw’okutongoza okukola oluguudo lw’e Kalalo-Kiyoga- Namutidde –Kalangaalo, ogwabaddewo ku Lwokutaano nga gwetabiddwaako abakulembeze n’abakungu ba disitulikiti y’e Mityana okwabadde ne Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Kiwanda nga y’akulira n’akakiiko ka disitulikiti ak’ebyenguudo. Omukolo gwatandise mu ttuntu ku Lwokutaano nga ssentebe wa LC V, Joseph Luzige yakiikiriddwa omumyuka we, Sarah Sentamu eyayogedde ku lwa disitulikiti n’oluvannyuma n’ayita Minisita Kiwanda okwogera.

Kiwanda olwakutte akazindaalo, abavubuka abaabadde bayimiridde mu kifo ekyesuddeko akabanga okuva ku mukolo baatandise okumuhoola n’okumukuba olube nti talina by’ayogera kubanga y’omu ku baalidde mu Bannayuganda olukwe ne ‘bagikwatako’ era tebamwetaaga mu kitundu kyabwe si ka luguudo. Abavubuka baabadde batandise okwesoma ng’abamu baagala kusembera ku mukolo bakole effujjo, omuduumuzi wa poliisi e Mityana, Emmanuel Mafundo n’atuuka ne kabangali eriko abaserikale olwo abavubuka ne beesega kyokka baasigadde bayimiridde akabanga katono okuva ku mukolo.

Kiwanda yayogedde n’ategeeza abaabadde ku mukolo nti ekimuleese si bya ‘kugikwatako oba butagikwatako’ wabula bya nkulaakulana n’asuubiza nti okuva ekiteeso lwe kyaleeteddwa mu Palamenti omubaka Raphael Magyezi n’aweebwa olukusa okuleeta ebbago ly’etteeka, agenda (Kiwanda) kukuba enkuhhaana okwebuuza ku bantu era kye banaamutuma ky’agenda okuzzaayo mu Palamenti.

Yayogedde ku by’enguudo mu disitulikiti n’oluvannyuma ne yeegattibwako Sarah Sentamu n’abakungu ba disitulikiti okulinnya ku tulakita egenda okulima oluguudo ne batongoza omulimu. Sarah Sentamu yategeezezza Bukedde nti wadde abatuuze abamu baabadde bawera nti tebagenda kukkiriza Kiwanda kulima luguudo kuba yasembye ‘ekwatibweko’ kyokka yabannyonnyodde nti Kiwanda si y’agenda okulima ekkubo wabula disistulikiti n’abajjukiza nti si buvunaanyizibwa bwa Kiwanda okulima amakubo wabula bwa disitulikiti.

Kansala w’eggombolola y’e Kalangaalo ku disitulikiti, Lewis Lule Matovu yategeezezza Bukedde nti Nabakooba yatuuse ng’omukolo guwedde kuba baaguyisizza mu bwangu olw’embeera eyabaddewo era Nabakooba we yatuukidde ng’abantu abamu baatabuse dda era naye ne bamutabukira ne bamulemesa n’okuva mu mmotoka. Poliisi naye yamutaasizza n’akyusa emmotoka n’avuga ng’adda e Mityana. Nabakooba yalumirizza nti waliwo bannabyabufuzi abaaguze abavubuka abo okubakolako effujjo era nti baabadde baalubatu nga n’abamu baapangisiddwa kuva mu kibuga ky’e Mityana ate abalala Kampala.

Wabula Kiwanda yagambye nti tewali kyabaddewo era omukolo ogw’okutongoza okukola oluguudo gwakoleddwa ne guggwa bulungi nga tewali akoze ffujjo nga bwe kigambibwa. Kyokka Luzige yagambye nti wadde teyabaddewo ku mukolo, yafunye lipoota eraga akavuyo akaabaddewo era n’asambajja ebigambibwa nti abaagezezzaako okukola effujjo baapangisiddwa bannabyabufuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...