TOP

Ebbago ku myaka gya Pulezidenti liyiseewo

By Ahmed Mukiibi

Added 4th October 2017

Kadaga yajjukizza ababaka nti balina okwebuuza ku bantu kubanga ennyingo esooka eya Konsitityusoni egamba nti obuyinza buli mu bantu era be balina okusalawo engeri n’enkola gye balina okukulemberwa.

Bbago1 703x422

Raphael Magyezi (Igara West) ng’ayanjulira Palamenti ebbago ly’etteeka okukyusa mu Konsitityusoni erya 2017.

Bya AHMED MUKIIBI NE SYLVIA ZAWEDDE

OMUBAKA Raphael Magyezi abuuse omuziziko ogwokubiri mu kaweefube we ow’okukyusa mu Konsityusoni okuggyawo ekkomo ery’emyaka 75 Pulezidenti kw’akoma okwesimbawo bw’ayanjizza ebbago ly’etteeka mu lutuula lwa Palamenti olubadde olw’ekimpoowooze.

Magyezi akiikirira Igara West kimutwalidde eddakiika emu n’ekitundu okwanja ebbago ly’etteeka, ‘THE CONSTITUTIONAL (AMMENDEMENT) (NO2) 2017 mu lutuula olutajjumbiddwa nga lwetabiddwaamu ababaka 120 bokka mu babaka 449.

Okwawukanako nga bwe gwali ku Lwokubiri n’Olwokusatu lwa wiiki ewedde Palamenti bwe yajjjula n’ebooga ng’ababaka naddala ab’oludda oluvuganya beesomye okulemesa ekiteeso kya Magyezi okuweebwa olukusa okuleeta ekiteeso kye, ku mulundi guno Palamenti tebaddeemu bbugumu kubanga ab’oludda oluvuganya baazize olutuula ate bannaabwe abalala 24 bakyali ku kibonerezo ekyabaweebwa Sipiika olw’okusiwuuka empisa mu lutuula olw’oku Lwokubiri oluwedde.

 

Essaawa zaabadde 9:34 ez’olweggulo, Magyezi n’ayanja ebbago n’asembebwa baminisita n’abamu ku babaka ba Palamentia aba NRM abaayimiridde ng’akabonero akalaga nti bamusembye okwanja ebbago ly’etteeka okukyusa mu Konsitityusoni

Nga bw’eri enkola ya Palamenti ng’ebbago ly’etteeka lyanjulwa omulundi ogusooka, n’ebbago lya Magyezi terikubaganyiziddwaako birowoozo, Sipiika Rebecca Kadaga n’alisindika mu kakiiko k’ebyamateeka akakulirwa omubaka Jacob Marksons Oboth akiikirira West Budama South okwekenneenyezebwa.

Kadaga yajjukizza ababaka nti balina okwebuuza ku bantu kubanga ennyingo esooka eya Konsitityusoni egamba nti obuyinza buli mu bantu era be balina okusalawo engeri n’enkola gye balina okukulemberwa.

Akakiiko k’ebyamateeka mu Palamenti katuulako ababaka 23 nga kuliko aba NRM 13, abatalina kibiina bali mukaaga okuli ne ssentebe Oboth-Oboth ate DP ne FDC balina ababaka babiri babiri. Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda yategeezezza nti kirungi nti ebbago lyanjuddwa n’agamba nti buli Munnayuganda alina omukisa okuwa ekirowoozo kye ku bbago lino.

Yagambye nti abantu abalina endowooza enz’enjawulo ku bbago lino basobola okuyita mu babaka baabwe oba okuleeta ebirowoozo byabwe mu kakiiko bijja kuwulirwa.

Omubaka Abasi Agaba (Kitagwenda) nga y’omu ku batuula ku kakiiko k’ebyamateeka yagambye nti akakiiko kagenda kutuula kayite abantu okuwa ebirowoozo byabwe ku bbago lino; Omubaka Ismail Alli Ogama (Lower Madi) yagambye nti agenda kwebuuza ku balonzi be era ebirowoozo bye banaamuwa ajja okubituusa mu Palamenti nga takyusizzaamu.

 

Ebbago lya Magyezi lirimu ennyingo nnya okuli eky’okuggyawo ekkomo ku myaka 75 omuntu yenna ayagala okwesimbawo ku Bwapulezidenti gy’alina okubeera nagyo.

Akawaayiro ak’emyaka 35 omuntu ayagala okubeera Pulezidenti oba ssentebe wa LC5 gy’alina okuba ng’awezezza nako kagenda kukyusibwa gidde ku myaka 18.

Ebbago era lirimu ennyingo okukyusa mu Konsitityusoni okwongera ebbanga ku nnaku 10 omuntu atamatidde na bivudde mu kulonda kw’alina okutwala omusango mu kkooti n’okwongera kkooti ey’oku ntikko obudde bw’okuwulira omusango gw’ebyokulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...