TOP

Kanyamunyu yeyimiriddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th October 2017

KYADAAKI kkooti emazze n'ekkiriza okusaba kwa Mathew Kanyamunyu okw’okweyimirirwa ku bukadde 10.

Kanyamunyuout 703x422

Kanyamunyu mu kkoti nga tanayimbulwa

Bya ALICE NAMUTEBI

KYADAAKI kkooti emazze n'ekkiriza okusaba kwa Mathew Kanyamunyu okw’okweyimirirwa ku bukadde 10.

Omulamuzi Wilson Kwesiga era amulagidde okuleeta paasipooti ye mu kkooti mu nnaku 7 okuva leero eterekebwe.

Abamweyimiridde banna nabo basabiddwa okusasula obukadde 10 ezitali za buliwo bwagambye nti talaba nsonga y’amaanyi emugaana kweyimirirwa.

Guno gubadde mulundi gwakuna nga Kanyamunyu asaba okweyimirirwa okuva mu kkomera e Luzira gyamazze kumpi emyezi 9.

Omulamuzi kwesiga agambye nti  oludda oluwaabi terulina nsonga y’amanyi gyeruwa eyinza kulemesa Kanyamunyu kweyimirirwa kubanga alina ekifo gyabeera gye basobola okumuggya bwaba yetaagibwa [ mu Royal Palms estate e Butabika] ate nga tewali mbeera yakagyagalalo eyinza kubeerawo mu bantu singa abeera atereddwa.

Omulamuzi Kwesiga olagidde Kanyamunyu addeyo ewaka muganzi we Cynthia Munwangari kata essanyu abulweko waliteeka wabula abaserikale bamakkomera ne bamugaana okumusemberera okumugwa mu kifuba.

Guno gubadde mulundi gwakuna nga Kanyamunyu asaba okweyimirirwa ku musango gw’okutta Kenneth Akena gweyakuba esasi olw’okukolobola emmotoka ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...