TOP

Bakutte ebyokulwanyisa bya Korea

By Musasi wa Bukedde

Added 4th October 2017

Bakutte ebyokulwanyisa bya Korea

Kub1 703x422

Kim Jong- un

EMMEERI ya North Korea ebadde ekubyeko ebyokulwanyisa bagikutte ng’ebalaamiriza eyolekera Misiri, ekyongedde obunkenke n’akeetereekerero k’olutalo wakati w’amawanga abiri Amerika ne North Korea.

Abakungu b’amawanga amagatte abakola ku byokwerinda be baakutte emmeeri ya North Korea kyokka baamaze kutemezebwako bambega ba Amerika. Eby’okulwanyisa ebyabadde ku mmeeri, abaabadde babitambuza baabadde beefudde abatambuza eky’obugagga ky’omu ttaka ekya “ iron ore”, era nga balaga nti bamutwala Misiri.

Kyokka abajaasi ba Amerika bwe beekebezze emmeeri baasanzeemu bbomu ekika kya guluneedi ezisukka 30,000 nga zibikkiddwaako langi za Cambodia.

Emmeeri eno eya Pulezidenti wa North Korea, Kim Jong-un we baagikwatidde Amerika yabadde yaakalabula Misiri ku mmeeri eno eyabadde ejja mu ggwanga lyabwe. Okunoonyereza okwakolebwa ekitongole ky’amawanga amagatte kwalaze nga bwe waliwo abasuubuzi mu Misiri abaabadde balagirizza ebyokulwanyisa bino.

Amerika erumiriza Misiri okuba nga yabadde egezaako okubikkirira ebyokulwanyisa bino, kuba wadde baabadde bamaze okubibategeezaako naye tewali kinene kye baakoze. Kyokka omwogezi w’ekitebe kya Misiri e Washington yategeezezza nti be baawaddewo amawulire g’entambula ya mmeeri eno ekyagireetedde okukwatibwa.

Yasambazze nga bwe batayinza kukolagana na North Korea mu kiseera kino ng’ekibiina ky’amawanga amagatte kyagiteekako nnatti.

David Thompson, omukugu mu kunoonyereza ku kitebe kya Centre for Advanced Defence Studies, mu kibuga Washington yagambye nti North Korea erudde nga yeeyambisa embeera obukodyo bw’okubuzaabuza nga bawagira ebikolwa by’okuvujjirira ebyokulwanyisa nnamuzisa.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa kigenda kuddirira oba ng’eno y’eneeba emmanduso y’olutalo lw’amawanga gombi agaludde nga tegalima kambugu. Pulezidenti wa North Korea Kim Jong-un yalabula dda Amerika nga bw’ayinza okugikuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza