TOP

Katikkiro awabudde aboogezi b'okumikolo

By Dickson Kulumba

Added 4th October 2017

Katikkiro awabudde aboogezi b'okumikolo

Lug2 703x422

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga anenyezza aboogezi ku mikolo gy’Okwanjula olw’okuzinisa abako amazina agatasaana, okubawa akazindaalo okwogerera ku buko, okulera ku baagalwa baabwe, okumansamansa ssente saako n’okwambala mu nnyambala etali ya Kiganda ku mikolo gino.

“ ….Bwetuleka ebintu okutambula nga bwetubiraba, ekiseera kijja kutuuka ng’okwanjula tekulimu makulu, olwo abaana nga babaggya mu mabbala nga n’abazadde tebamanya ngenda y’abaana baabwe.

Mu mikolo gino, omuko ayambala ekkanzu Enganda, so si kkanzu empalabu era teyandyambadde bitengi. N’ekirala mulekerawo okuzinisa abaana gyemugenze okwanjula, ag’okwefukuta,” Mayiga bweyasomozezza aboogezi bano okulungamya emikolo.

Bino abyogedde asisinkanye aboogezi bano e Bulange- Mmengo olwaleero , 2017 naabebaza olw’okubeera omuzindaalo gw’ebintu ebikolebwa Obwakabaka n’okuyigiriza abantu obuwangwa bwabwe era n'ategeza ng’Obwakabaka bwe bulowooza ku ky’okukola amazzi Amatongole okugatta ku bintu ebirala ebireeteddwa okwongera ku nnyingiza.

Mayiga yabasabye okuggumiza enkola eyayisibwa olukiiko lwa Buganda ey’okusimba emiti mu kwanjula, ennyimbe n’emikolo emirala kyokka n'abalagira okusimbanga egyo egy’ekinnansi, okulambika ku nnyimba empya ey’oluyimba Ekitiibwa Kya Buganda n’obudde omuko bwalina okuva gyeyagenze okwanjula.

Minisita Ow’Obuwangwa, ennono n’Obulambuzi, Denis Walusimbi Ssengendo akubirizza abantu bano okufuba okukozesa olulimi olutuufu mu kiseera nga bakola kubanga bwebatakole kino, Oluganda luyinza okusanaawo nga balaba kyokka nga mwebaggya ensimbi.

Aboogezi bakulembeddwamu Ssentebe waabwe, Hannington Ssonko ng’ono ategezezza nti ekibiina kyabwe kyongedde okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka mu bitongole nga Nnabagereka Foundation, Kabaka Foundation n’ebirala kyokka ne basaba Katikkiro okubafunira ekifo webayinza okuteeka ofiisi.

“Tusaba okuweebwa ku mukisa tusisinkane ku Ssabasajja Kabaka tumubuulire engeri gye tutambuzaamu omulimu gwaffe kubanga tumulinamu ennyonta okumulabako.”

Omukolo gwetabiddwako Minisita Omubeezi ow’obuwangwa Yusuf Wamala Ggaganga, Ronald Kawaddwa owa Majestic Brands n’abakungu abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza