TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssebalamu annyonnyodde akakiiko k’ettaka ku Lwera

Ssebalamu annyonnyodde akakiiko k’ettaka ku Lwera

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2017

Ssebunya ne Ruhindi baamulemeddeko annyonnyole engeri gy’ayambamu eggwanga ng’atyoboola obutonde ne balaga okutya nti gye bujja n’oluguudo lw’e Masaka lwandibeera mu katyabaga.

Lweramulamuzi 703x422

Omulamuzi Bamugemereire ( ku ddyo) ne Ssebalamu ( ku kkono) Ssebunya ne Ruhindi nga balambula Lwera.

Bya S. BAAGALAYINA

OMUGAGGA w’omu Kampala John Ssebalamu alambuzza akakiiko akabuuliriza ku by’ettaka ekifo mw’alundira ebyennyanja n’okusima omusenyu mu Lwera. Ku Lwokubiri, akakiiko akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire kaatandise okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka e Masaka gye kanaamala ennaku nnya.

Omulamuzi Bamugemereire n’abaakakiiko ke okuli Robert Ssebunnya ne Fred Ruhindi baasoose kusisinkana bakulembeze b’e Kalungu n’aba Lukaya Town Council ku Lwokubiri.

Wano we baavudde okugenda mu Lwera beetegereze bye baabadde bategeezeddwa nti abagagga boonoonye obutonde bw’ensi naddala nga bayita mu kusima omusenyu.

Akakiiko era kaayagadde okumanya bannannyini byapa n’engeri gye baabifunamu ku ttaka ly’olutobazzi.

Abakulembeze b’ekitundu kwabaddeko RDC Hajji Abubaker Lubega Kaddunnabbi, amyuka CAO Fredrick Balemeezi n’avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi Richard Vvube ne Meeya wa Lukaya Gerald Ssennyondo.

Olwatuuse mu Lwera, Ssebalamu baamusanzeeyo ne bamussa ku nninga abannyonnyole engeri gye yafunamu ebyapa by’obwannannyini ku ttaka ly’entobazzi.

Ssebalamu yannyonnyodde nti ettaka yalifuna mu mateeka era n’ekitongole kya NEMA kimanyi by’akola.

N’agamba nti ebinnya mw’asima omusenyu abirundiramu ebyennyanja. Kyokka akakiiko tekaamatidde bye yakannyonnyodde naddala bwe yagambye nti ettaka ly’olutobazzi n’ettaka eddala lyonna Katonda yalissaawo kuyamba bantu be. Era kino kyennyini ky’akola ng’ekigendererwa ekikulu kuyamba ggwanga.

Ssebunya ne Ruhindi baamulemeddeko annyonnyole engeri gy’ayambamu eggwanga ng’atyoboola obutonde ne balaga okutya nti gye bujja n’oluguudo lw’e Masaka lwandibeera mu katyabaga.

Wano Ssebalamu yabannyonnyodde nti okugenda mu Lwera yasanga waliwo ebyapa by’ettaka lya mayiro nnamba ku katale n’abisasula.

Era talabawo musango gwe yazza.

Kyokka akakiiko ne kamubuuza oba nga bw’asanga ennyama y’abantu ku mudaala asasula busasuzi?

Ssebalamu yategeezezza nti ettaka ku ludda olw’e Mpigi lyamuguzibwa ng’ebyapa biri mu mannya ga Mayanja Nkangi.

Ate eriri mu Kalungu lyamuguzibwa Minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja.

Mu ttaka lino mwe yasangiddwa ng’asima omusenyu.

Ssebalamu yannyonnyodde nti ebitundu mw’asima omusenyu byalambulwa aba NEMA n’akakiiko k’ebyettaka mu ggwanga ne bamukkiriza okukola.

Wano akakiiko kaakyukidde owa NEMA atwala Kalungu, ayitibwa Vvube gwe baakazizza lwaki ng’omukungu wa Gavumenti aliwo okutaasa n’okukuuma obutonde teyawabula Ssebalamu nti ekifo w’akolera akirimu mu bukyamu.

Vvube yeerwanyeko nti wadde alina obuvunaanyizibwa obwo naye Ssebalamu alina ebyapa n’ebiragiro ebyamuweebwa akakiiko k’ebyettaka mu ggwanga gattako okuva mu bakama be aba NEMA.

Wabula Vvube bwe baamulemeddeko kwe kukyusa n’agamba nti ekitundu gye baabadde kitwalibwa Mpigi ye avunaanyizibwa ku Kalungu.

Bamugemereire yeewuunyizza lwaki Ssebalamu assa ebikomera okuli enzigi ez’amaanyi mu Lwera ng’agendayo asooka kuggulirwa.

Ssebalamu yayanukudde nti gano matwale ge gy’akolera bizinensi okuli okulunda ebyennjanja ebyetaagisa obutaleka buli omu kusaalimbirayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza