TOP

Abasomesa abasinga mu Uganda basiimiddwa

By Herbert Musoke

Added 5th October 2017

MINISITA w’ebyenjigiriza by’amatendekero aga waggulu mu ggwanga John Chrysostom Muyingo akubirizza abasomesa bulijjo okubaako ebintu eby’enjawulo bye bakola okukulaakulanya amasomeso gaabwe n’ebitundu mwe bakolera

Teachers1 703x422

Minisita JC Muyingo n'omusomesa anywedde mu banne akendo Geoffrey Owing okuva e Nakapiripirit

Bya HERBERT MUSOKE

MINISITA w’ebyenjigiriza by’amatendekero aga waggulu mu ggwanga John Chrysostom Muyingo akubirizza abasomesa bulijjo okubaako ebintu eby’enjawulo bye bakola okukulaakulanya amasomeso gaabwe n’ebitundu mwe bakolera.

musomes enny amunu ukasaowokubiri ku kkono okuva moro ngakwasibwa ceeke ne satifikeeti gyawangudde Omusomes Venny Lamunu Mukasa(owokubiri ku kkono) okuva Omoro ng'akwasibwa ceeke ne satifikeeti gyawangudde

 

Minisita Muyingo bono abituuseeko bw’abadde akwasa abasomesa abawangudde empaka z’okubaako engeri y’enjawulo gye basomesa abayizi baabwe wamu n’okuyamba ebitundu byabwe ez’enjawulo eziyitibwa “Teachers making a difference”,ez’omulundi ogw’okuna ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group ku mukolo ogubadde ku kitebe kya kkampuni eno.

 mwogezi wa  atherine tabadde ngakwasa Omwogezi wa UNICEF Catherine Ntabadde ng'akwasa John Kyeswa satifikeeti emusiima

 

 Muyingo agambye nti abasomesa mpagi luwaga mu kukulaakulanya n’okuzimba eggwanga.

Abasomesa 12 beebalondwa kw’abo 620 abaayingizibwa mu mpaka zino nga bano buli omu aweereddwa akakadde kamu n’ekitundu ate abataano abasoose baakutwalibwa mu ggwanga lya Ireland okulambula nga bino byonna.

Akulira amawulire agafulumizibwa Vision Group omuli ne Bukedde, Barbra Kaija agambye nti nga bali wamu n’ebitongole ebissa ssente mu mpaka zino okuli; ekitebe kya Ireland mu Uganda, Trocare ne Simba TravelCare bagenda kwongera amaanyi mu mpaka zino okulaba nga banoonya abasomesa abaliko kye bakola okuyamba abayizi n’ebintu ebikozesebwa mu kusoma kyokka nga tebamanyiddwa. 

 mumyuka wakulira ision roup ervase dyanabo ngakwasa mmanuel ngoda ebirabo Omumyuka w'akulira Vision Group Gervase Ndyanabo ng'akwasa Emmanuel Angoda ebirabo

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...