TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayanukudde Bobi Wine ku ky'ekkomo ku myaka

Museveni ayanukudde Bobi Wine ku ky'ekkomo ku myaka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2017

Museveni ayanukudde Bobi Wine ku ky'ekkomo ku myaka

Lob2 703x422

Pulezidenti Museveni bwe yabadde e Lugogo mu mwoleso gwa bannamakolero.

PULEZIDENTI Museveni awandiise ng’ayanukula Bobi Wine ku kiwandiiko kye yamusindikira omwezi oguwedde, ekyekuusa ku nteekateeka z’okuggyawo ekkomo ku myaka gy’Obwapulezidenti n’okukyusa obukulembeze mu mirembe.

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) yaakawandiikira Museveni enfunda bbiri era nga Pulezidenti amwanukula. Mu kiwandiiko kya Pulezidenti ekiriko ennaku z’omwezi October 1, 2017 yasoose kulambika nti:

Nkizudde nti Hon. Bobi Wine agifudde nkola okuwandiika by’alowooza ebirina okukolebwa mu Uganda. Bobi Wine yasooka kuwandiika nga July 16, 2017 ng’ayanukula ku kiwandiiko Pulezidenti kye yali awandiise nga kyesigamiziddwa ku kalulu Bobi Wine ke yali yaakawangula

MUSEVENI AVUMIRIDDE EFFUJJO

Museveni mu kiwandiiko kino, yasoose kwogera ku kyali e Makerere n’ategeeza nti: Mu kukuza olunaku lwa Muzeeyi Nelson Mandela, Bobi Wine y’omu ku baali mu kibinja ekyagezaako okuwamba omukolo bagufuule ogw’okuvumirira Museveni ne NRM.

Nasalawo obutaanukula ku byabwe nze essira ne ndissa ku Muzeeyi Mandela ne Afrika. Kyokka nalabawo obusiiwuufu bw’empisa, obutamanya n’amalala mu ngeri ekibinja ekyo gye kyali kyeyisaamu.

Oluvannyuma yayogedde ne ku ky’ebbago ly’okuggyawo ekkomo ku myaka, Bobi Wine kwe yeesigamya ekiwandiiko kye n’agamba nti ky’atagenda kukkiriza kwe kutiisatiisa n’okukola effujjo.

Museveni yagasseeko nti: Enkola ey’okutiisatiisa n’okukola effujjo ku bantu ya basibiramubbwa. Buli muntu aweebwe omukisa okwogera ky’alowooza n’okuwa ebirowoozo bye, awatali kutiisibwa.

Tujja kwahhanga buli muntu yenna atiisatiisa oba okutabangula emirembe era tumumegge. Yategeezezza nti waakwogera ebisingawo ku by’ekkomo ku myaka mu kiseera ekituufu.

ALAMBISE KU BYAWANDIIKIDDWA BOBI WINE

Yasoose kwewuunya Bobi Wine bye yawandiika ku kabondo ka NRM okuwagira ekiteeso Museveni ayanukudde Bobi Wine ku ky'ekkomo ku myaka ky’ebbago ku myaka bwe yategeeza nti, “ Kino bakikoze mu kiseera ng’eggwanga likulukuta musaayi mu myaka 31 egiyise.

Ettutumu ly’eggwanga lyaffe lyonna lisaanyeewo.” Awo Museveni we yasinzidde n’abuuza nti: Ttutumu ki ly’oyogerako eggwanga lye lyalina ng’abantu tebaalina munnyo, ssukaali, amafuta era nga tewali bukuumi ku bulamu bwabwe n’ebintu byabwe.

Yalambise nti n’okukolokota Gavumenti ku bintu eby’enjawulo omuli n’abavubuka abatalina mirimu, Bobi Wine yakikola akyesigamizza ku butamanya oba ng’asazeewo kulimba mu bugenderevu.

Yanokoddeyo eky’okutemula abakazi n’agamba nti abatemula abakazi bakwatiddwa n’alaga nti e Nansana gye batta abakazi 10 bakutteyo abantu 16 ne batwalibwa mu kkooti; e Kawempe battayo omuwala omu era poliisi n’ekwata 2 ne bavunaanibwa; e Ntebe gye basse abakazi 11, bakutteyo abantu 13 ne bavunaanibwa ate e Bulaga mu Wakiso gye batta omukazi nayo bakutteyo abantu 2 ne bavunaanibwa.

Yawunzise agamba nti NRM erina bingi by’etuuseeko era ekyakola bingi ebitwala Uganda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...