TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Musumba Ssebuguzi eyayawukane ne Bugingo amaze n'addayo ewa Kitaawe Sserwadda

Musumba Ssebuguzi eyayawukane ne Bugingo amaze n'addayo ewa Kitaawe Sserwadda

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2017

Musumba Ssebuguzi eyayawukane ne Bugingo amaze n'addayo ewa Kitaawe Sserwadda

Yap2 703x422

Paasita Ssebuguzi

PAASITA Martin David Ssebuguzi akubye enkyukira n’addayo ewa kitaawe Dr. Joseph Serwadda mu Ndeeba gy'abadde amaze emyaka etaano nga talinnyayo kigere. Okutabagana kuno kwabaddewo ku Lwokuna ekiro mu kusaba okwabadde mu kkanisa ya Victory mu Ndeeba, Ssebuguzi bwe yasitudde famire ye n’abantu nga 30 abaamuwerekeddeko n’asisisinkana kitaawe Serwadda.

Ku ssaawa 4:20 ez’ekiro, Dr. Serwadda yayingidde mu kkanisa enduulu n’esaanikira ekkanisa. Yasoose kutegeeza bagoberezi nga bwe yabadde akomyewo ku Lwokuna ekiro mu ggwanga okuva e Norway n’asaba abagoberezi baanirize paasita David Martin Ssebuguzi.

Dr. Sserwadda olwamaze okwaniriza mutabani we, teyazzeemu kumwogerako kintu kirala ng’abantu bwe baabadde basuubira era yagenze bugenzi mu maaso n’atandika okubuulira enjiri nga bwe yabadde agitegese. Ensonda mu kkanisa zaategeezezza nti, Dr. Serwadda obutamala kiseera kinene ng’ayogera ku kudda kwa mutabani we, yayagadde kwewala bigambo paasita Bujingo bye yandiyinzizza okweyambisa okwongera okumulumba era mu nkola eno, teyawadde paasita Ssebuguzi mukisa kwogera obutayagala kuleetawo mbeera ya kuwaanyisiganya bigambo wakati wa Victory Church ne Bujingo.

Paasita Ssebuguzi okukomawo mu kkanisa ya kitaawe n’ayanjulwa eri abagoberezi, kiddiridde okwogeraganya mu kyama wakati we ne kitaawe Dr. Serwadda era ensonda zaategeezezza nti, Dr. Serwadda ng’omuzadde, yasonyiwa mutabani we olwa byonna ebyaliwo naddala ebbanga lye yamala ng’ali ewa Bujingo.

Bino we bijjidde nga paasita Bujingo owa House of Prayer Ministries yaakamala okuvaayo enfunda bbiri mu wiiki emu n’alumiriza bapaasita banne okuli; Serwadda, Kiganda ne Sebuguzi okubeera nga bafubye okumukyayisa abantu, kyokka kirabika bigaanyi.

Sebuguzi okudda ewa kitaawe abamu baakitunuulidde ng’ekiyinza okwongera kitaawe amaanyi mu bagoberezi be. Olw’okuba omwana yali yeewaggudde bw'akomawo awaka n’amwaniriza era n’amusonyiwa kibeera kiraga obukulembeze obulungi bw'alina. Mikwano gya Sebuguzi gyategeezezza nti, omuntu waabwe okudda ewa kitaawe yayagadde kusaabulula bigambo bya Bujingo abadde alaga abantu nti tebayinza kuddamu kutambulira wamu.

Mbu Bujingo yali yawera nti Sebuguzi ne Serwadda tebakyaddamu kubeera bumu. Obugenyi buno bwabadde bwa sseruganda na kutabagana, naye nga tekitegeeza nti Sebuguzi yaggaddewo ekkanisa ye n'agitwalira ddala mu Ndeeba.

OBUTAKKAANYA BWABWE BWONNA

Bujingo ne Sebuguzi bonna baali basabira mu kkanisa ya Victory Christian Church mu Ndeeba ey’Omutume Dr. Serwadda. Mu 2011, Bujingo yatandika ekkanisa ya House of Prayer Ministries era waayita ekiseera kitono Sebuguzi n’amwegattako. Bujingo ne Sebuguzi gwali gubasaza mu kabu okumala emyaka 14 gye baabeera bonna era ettuttumu baalizimbira ku leediyo ya Impact FM eya Serwadda.

Ekiseera Sebuguzi kye yamala ewa Bujingo ye yali amumyuka era nga bw'aba taliiwo y’abuulira. Ne mu kubudaabuda abantu ku kkanisa eno baalina obusenge, ng’abagoberezi abamu bagenda wa Bujingo ate abalala wa Sebuguzi.

Kyokka mu November wa 2016, Sebuguzi yatabuka ne Bujingo era ekyavaamu kwawukana. Mu kiseera kino Sebuuzi yakola ekkanisa ya Living Faith City Church esangibwa ku Bat Valley. Ebimu ku bigambo Bujingo by'azze akozesa eby’obusagwa ng’alumba Serwadda na kati abamu bakyabinyeenyeza mutwe; “Serwadda alinga eyayingira obusamize okusinziira ku ngeri gy'ayagalamu ebitiibwa.

Omanyi enkola eyo ya basamize.” Olulala yagamba nti; “Serwadda ky'alina okumanya ettaka lya bamulekwa lye baali bawoza n’omugenzi talizzangayo. Mutabani we Sebuguzi ye mujulizi kuba yahhambira ddala nti kitaawe yalinyaga”. “Olunaku Serwadda lw'alifa Abasiraamu baliggyayo ehhoma ne bazina.

Bano talina kyatabavuma kuba yatuuka n’okuwandiika ekitabo ekibavvoola. Kyokka kyewuunyisa okuba nga mu kiseera kino mulaba ne Mufti Mubajje”. “Serwadda gwe mulaba yagezaako okuyingira ebyobufuzi ne bigaana era ky’ova olaba ng’ayagala nnyo okubeera pulezidenti w'abalokole.

Yeesimbawo edda ne Ken Lukyamuzi e Lubaga South n’amukuba akalulu mu kiwalaata” “Katonda eyamponya Martin Sebuguzi mutabani wa Serwadda gwe yali ansindikidde, nkimanyi bulungi nti ajja kumpanguza abalabe bonna.” bwatyo Bujingo bw'azze ayogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olupapula 220x290

Luli Bukedde tubadde tumusomera...

ENSWA bw’ekyusa amaaso naawe okyusa envubo. Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bwe buwanise amatanga ono omusomi...

Pasitor 220x290

Pasita Namutebi naye akyusizza...

EMBEERA ya Corona buli omu emusaza ntotto naye n’abasumba b’abalokole nabo tebatudde.

Covidfinal 220x290

Ono ebya Corona kirabika yabitegedde...

OMUKULU ono oba ebiragiro bya Pulezidenti n’abeebyobulamu ku kwetangira obulwadde bwa ssennyiga omukabwe abitegeera...

Diamond 220x290

Maneja wa Platnumz awonye Corona...

SALLAM SK (ku kkono) nga ye maneja w’omuyimbi Diamond Platnumz (ku ddyo), awonye ekirwadde kya Coronavirus.

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...