TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Musumba Harunah Nsereko akubirizza abantu okusonyiwagana

Musumba Harunah Nsereko akubirizza abantu okusonyiwagana

By Moses Lemisa

Added 9th October 2017

Musumba Harunah Nsereko akubirizza abantu okusonyiwagana

Jub1 703x422

Musumba Harunah Nsereko ne Yazidi Muwanguzi nga bali mu kusaba

OMUSUMBA  w’ekkanisa ya Ndejje Victory  avumiridde abantu abagaana okusonyiwagana kye yagambye nti kiba kya bulabe eri enjuuyi zombie.


Harunah Nsereko omumyuka wa Yazidi Muwanguzi omusumba omukulu ow’ekkanisa ya Ndejje Victory esangibwa mu Kanyanya zooni mu Disitulikiti ye Wakiso yasinzidde mu kusaba  ku Ssande  okw’okuyingiza bannayuganda mu Independence  , mu kubulira  yategeezezza nti abantu bangi balina obukyayi ku bannaabwe ng’entabwe eva ku kugaana kusonyiwagana kye yagambye nti okusonyiwa omuntu akusobezza
tekyetaagisa ssente naye abantu bangi  kibalema .

“Ekigambo nsonyiwa kitono naye kiremye abantu bangi ne basigala n’obusungu mu muitima ekitaba  kirungi nga kisobola n’okuvaako obulabe ku njuuyi zombi nsaba bannabyabufuzi , bannaddiini  ,ne bannayuganda okusonyiwagana mu buli mu mbeera  kuba ne bayibuli mu Abafeso 4:30 -32 wagamba Tusonyiwe nga ffe katonda bwe yatusonyiwa “ Nsereko bwe yategeezezza

Yayongeddeko  nti  Uganda okufuna obwetwaaze yamala  kufuna kutabagana ne Bungereza  kati emyaka 55  Uganda yeefuga , mu kusaba kwe kumu omusumba Nsereko n’abasumba abalala banaziizza abagoberezi ebigere ng’akabonero akasumulula  engendo zaabwe saako n’okubasiiga amafuta okusobola okukola emirimu gy’akatonda mu bulungi .

Ate omusumba  Florence Muwanguzi mukyala w’omusumba Yazidi Muwanguzi yategeezezza  nti eggwanga lyaffe lyaswadde mu nsi z’ebulaaya olw’ababaka ba palamenti okusiwuuka empisa ne balwanira mu kifo ky’obobuvanaanyizibwa
nga wano we yasabidde katonga okussaawo obwenkanya mu bannayunda naddala abakozi ba Gavumenti okuli n’abasawo ababba eddagala mu malwaliro ne batafaayo kulumirirwa bannayuganda .

Mu basumba abalala abaasabidde eggwanga ye musumba Michael Yiga Okusaba kuno  bwetabyemu n’abayimbi okw’abaadde  Angle Kisakye , Denies, Keith Jennifer , Lillian Maliga n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....