TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi Spice Dina apooca na biwundu oluvannyuma lw'okkubwa

Omuyimbi Spice Dina apooca na biwundu oluvannyuma lw'okkubwa

By Josephat Sseguya

Added 9th October 2017

Omuyimbi Spice Dina apooca na biwundu oluvannyuma lw'okkubwa

Hub1 703x422

Spice Diana ng'ali mu Ddwaliro

OMUYIMBI Spice Diana eyayimba Onsanuula, Koona (ne Pallaso), Masannyalaze, Bukete, Tokombako, Njabala (ne B2C) ne manejawe Rogers Lubega bapooca na biwundu bye bagamba nti, byabatuusiddwako poliisi eyabakubidde mu kivvulu kya KCCA ekya Kampala Capital City Carnival ku Ssande.

 

Lubega asangiddwa mu ddwaliro lya Malcolm X e Kibuye ku lw’e Ntebe ategeezezza nti, baabadde mu kivvulu ekyo nga bamaze okuyimba ku sitegi ya KCCA nga basala oluguudo lwa Nkurumah bagende bayimbe ku sitegi endala ku Nandos era baasanze ebbiina ly’abantu abalala bangi abaabadde bagenda gye baabadde balaga wabula owa poliisi gwe balumiriza okubakuba nga bagamba nti yabadde DPC ng’alina n’amayinja asatu, yabakubye ng’abwabalangira okuyita we batalina kuyita.

 

Lubega anyumya nga bwe baamwegayiridde abaleke kubanga baabadde tebamanyi nti tewali kkubo ne bamusaba abakkirize kubanga omuyimbi we Spice Diana ng’amannyage amatuufu ye Hajarah Namukwaya, be baabadde balina okudda ku sitegi wabula omuserikale oyo n’agaana n’atandika okubakubisa ‘batuuni’ badde emabega.

 

Lubega eyabadde ataasa naye baamukubye nga bwe balaajana ate bwe baabalese ne babasibira mu kaduukulu ka poliisi ne babaggulako omusango ogw’okukuba omuserikale ku fayiro nnamba 17/08/10/2017.

Kyokka Lubega yewuunyizza olukujjukujju lwa poliisi nti yeyabakubye ate n’ebaggulako omusango nti Spice Diana ye yakubye omuserikale ate nga musajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome