TOP

Omwana afiiridde mu kidiba kya Gavana Mutebile

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2017

Abaana bano baawuze kyokka Sekizivu yalemereddwa. Banne bwe baalabye nga tebamulabako, kwe kudduka nga tebalina gwe bategeezezzaako.

Sekizibu1 703x422

Mutebile ne Ssekizibu

Bya WASSWA B. SSENTONGO

EMIRANGA n’okwaziirana bibuutikidde ekyalo Namakonkome mu ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, omuyizi bw’afiiridde mu kidiba ky’akulira Bbanka ya Uganda Enkulu, Emmanuel Mutebire.

Allan Sekizibu 16, abadde asoma S1 ku Seed Secondary School e Buwambo ye yasangiddwa ng’afiridde mu kidiba kya Mutebire gye yabadde agenze okuwuga ne banne.

Sekizibu banne baamunonye awaka ku Lwomukaaga we yabadde ne kitaawe, John Ssali.

Ku kidiba baasanze omukuumi taliiwo ng’agenze mu kibanda kulaba mupiira wakati wa Uganda Cranes ne Ghana.

Abaana bano baawuze kyokka Sekizivu yalemereddwa. Banne bwe baalabye nga tebamulabako, kwe kudduka nga tebalina gwe bategeezezzaako.

Omulambo gwe gwalabiddwa omukuumi w’ekifo kino, Ssaalongo Juma Bashiri ng’avudde mu kibanda.

Poliisi y’e Matugga yeegattiddwaako abatuuze ne baggyayo omulambo.

Taata w’omugenzi annyonnyodde

Kitaawe, John Ssali agamba: Ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo bayizi banne bazze awaka nga banonye mutabani we.

Nababuuzizza gye balaga nga tebanziramu ne mbagoba. Omwana wange yabadde atabudde eddagala ly’ennyaanya ng’agenda kuzifuuyira.

Baalabye nvuddewo, ne bakomawo awaka ne bagenda naye.

Omutima gwange obwedda gwekanga nga gulinga ogumbagulizaako nti waliwo obuzibu. Nabadde nkyebuuza, omukuumi Juma n’ankubira essimu ng’antegeeza ng’omwana wange bw’afiiridde mu kidiba!

Nsaba abeebyokwerinda batuyambe bazibe ekinnya kino.

Atwala Poliisi y’e Matugga, Patrick Omala yagambye nti omulambo baagututte mu ddwaaliro e Mulago, abasawo bagwekenejje.

Omukuumi we ayogedde

Ssaalongo Bashiri Juma, akuuma faamu ya Mutebire yagambye nti: Abaana bandabiriza nga siriiwo ne bawuga.

Ku luno nabadde mu kibanda nga ndaba mupiira. Abazadde abamu bw’ogamba ku baana baabwe okwesonyiwa ekidiba, bakuggulako mpalana.

Kye nava nsalawo okuleka abaana ne basenanga amazzi. Wabula nabakuutira obutawuga kuba ekidiba kyabulabe kyokka bandabiriza ne bawuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...