TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

Gob1 703x422

Aba NRN ebweru w'eggwanga nga bali ku cake eyagabuddwa ekitebe kya Uganda e Bungereza ku mikolo gy'emeefuga egyategekeddwa

ABAWAGIZI ba NRM ababeera ebweru wa Uganda abakulemberwa Mw. Patrick Asiimwe bajaganyizza ameefuga ga Uganda aga 55 ku bubaga bwe baakoze mu mawanga ag’enjawulo gye bakolera.

  abawagira  ababeera ebweru nga bali ku mikolo gyemeefuga ga ganda aga 55 agyabadde e ushenyi ku ande BANNAYUGANDA abawagira NRM ababeera ebweru nga bali ku mikolo gy'emeefuga ga Uganda aga 55 agyabadde e Bushenyi ku Mande.

 Obubaga buno obwabaddewo ku Mande, e Misiri, South Africa, Turkey ne London.            “Tuyozaayoza Bannayuganda bannafe p;webyo bye batuuseeko mu myaka 55, era tubakubiriza okugenda mu maaso n’okukola ate n’okuwagira enkulaakulana etuukiddwako mu ggwanga”,  Mw. Asiimwe bwe yategeezezza mu bubaka bwe yaweerezza bannakibiina mu mawanga gye bali.

bawagizi ba  e isiri gypt abaakulembeddwamu sentebe waabwe eniffer abisere owokubiri ku kkono  nga bali ku mikolo kyamefuga ga ganda egya 55 mu kibuga airoAbawagizi ba NRM e Misiri (Egypt) abaakulembeddwamu Ssentebe waabwe Jeniffer Nabisere (owokubiri ku kkono) nga bali ku mikolo ky'amefuga ga Uganda egya 55 mu kibuga Cairo.

Mw. Asiimwe yagambye nti  basanyufu nga bo abali ebweru bwe balaba emisinde Uganda kwekulaakulanira wansi w’obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni era nga baakugenda mu maaso n’okumuwagira mu kaweefube gwaliko ow’okuteeka Uganda ku maapu.

 mubaka wa ganda mu ungereza ulius eter oto wakati ngali ne entebe wa  owekiseera atrick  ssimwe ku ddyo  nomwogezi oses imuli ku kkono bwe babadde ku mukolo gwokujaganya ameefuga ga ganda aga 55 mu kibuga ondon Omubaka wa Uganda mu Bungereza Julius Peter Moto (wakati) ng'ali ne Sentebe wa NRM ow'ekiseera Patrick Assimwe ku (ddyo) n'omwogezi Moses Kimuli ku (kkono) bwe babadde ku mukolo gw'okujaganya ameefuga ga Uganda aga 55 mu kibuga London.

Kwe kutegeeza nti wakugenda mu maaso n’entegeka ez’okulambula amatabi gaabwe mu mawanga ag’enjawulo omuli Misiri, South Africa n’amalala gye yatandikako gye buvuddeko.  

  abawagira  e outh frica nga bali ku mikolo gyamefuga ga ganda gye baakwatidde mu kibuga  ape town sooka ku ddyo ye sentebe waabwe ennis alema BANNAYUGANDA abawagira NRM e South Africa nga bali ku mikolo gy'amefuga ga Uganda gye baakwatidde mu kibuga Cape town. Asooka ku ddyo ye Ssentebe waabwe Dennis Kalema

Ate ye Omwogezi ow’ekiseera ow’ekibiina kino mu mawanga g’ebweru Mw. Moses Kimuli yagambye nti omulamwa mu kujaganya kuno kwabadde kwongera kwegatta, okuwagira enteekateeka z’okukulaakulanya Uganda nga basikiriza bamusiga nsimbi ate n’okutunda Uganda ebweru mu mawanga gye babeera.

 bakungu ba  mu mawanga gebweru nga bali ku bijaguzi byamefuga mu kibuga ondon ekya ungereza wokubiri ku kkono ye sentebe waabwe w atrick siimwe Abakungu ba NRM mu mawanga g'ebweru nga bali ku bijaguzi by'amefuga mu kibuga London ekya Bungereza. Owokubiri ku (kkono) ye Ssentebe waabwe Mw. Patrick Asiimwe

N’agattako nti bagenda mu maaso n’entegeka y’okuwandiisa ba mmemba baabwe olw’okwetegekera okulonda bakulembeze baabwe abaggya okugenda okubeerawo mu mwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...