TOP

Mubajje asisinkanye Kamulegeya

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Mufti Sheikh Shaban Mubajje asisinkanye akulira Bamasheikh mu ggwanga ab’ekiwayi ky’e Kibuli Sheikh Obedi Kamulegeya ekyataputiddwa nti enkolagana y’abakulu bombi eyongedde okunywera.

Kamulegeya1 703x422

Sheikh Mubajje ( ku kkono) ng’alamusa Sheikh Kamulegeya.

Bya MUSASI WAFFE

Mufti Sheikh Shaban Mubajje asisinkanye akulira Bamasheikh mu ggwanga ab’ekiwayi ky’e Kibuli Sheikh Obedi Kamulegeya ekyataputiddwa nti enkolagana y’abakulu bombi eyongedde okunywera.

Kyokka Sheikh Kamulegeya yategeezezza Bukedde nti okusisinkana Mubajje ku Hotel Africana, baabadde ku mukolo ogwategekeddwa omubaka wa Saudi Arabia nga bajaguza emyaka 78 egy’enkyukakyuka ezaaleetebwa Ssekabaka Abdallah.

Ensonda e Kibuli zaategeezezza nti Mubajje okusisinkana Kamulegeya ne beegwa ne mu bifuba kyewuunyisa kuba Kamulegeya aludde ng’avumirira Mubajje olw’okutunda emmaali y’Obusiraamu.

Kamulegeya yasooka kusisinkana Mubajje nga April 19, ku Dduwa eyategekebwa omubaka wa Bukoto South, Muhammad Mbabaali okujjukira kitaawe Haji Akaya Muyanja. Kyokka Kamulegeya yategeezezza Bukedde nti yayitiddwa ku mukolo mu bukulu bwe nga dayirekita w’ekibiina kya Muslim World League mu Uganda.

 heikh ubajje ngagwa heikh amulegeya mu kifuba Sheikh Mubajje ng’agwa Sheikh Kamulegeya mu kifuba.

 

Aba Saudi Arabia be baatandika ekibiina kino era be bakiwa ssente. Mufti naye yasangiddwa ng’ayitiddwa ku mukolo ne mmulamusa ng’omukulembeze w’Abasiraamu.

Yagambye nti ye ng’omukulembeze mu Busiraamu tasiba bukyayi ku mutima. Mubajje bw’aba alina ensobi ze yakola ng’omuntu ye yamusonyiwa n’amukwasa Allah y’alimanya bw’amulamula.

Gye buvuddeko Kamulegeya yafuna obutakkaanya n’ab’e Kibuli nga buva ku nteekateeka za Kamulegeya mwe yaleetera Pulezidenti Museveni okuwa ssente ekibiina ekisolooza Zaka mu ggwanga ekya House of Zaka and Waqf.

Museveni yabasisinkana ku Africana n’abasuubiza obukadde 400. Kyokka Kamulegeya yategeezezza nti ssente tebannazibawa. N’ekiragiro kya Pulezidenti obutaggya musolo ku ssente za Zaka nakyo tekiteekebwanga mu nkola.

Kyokka ensonda zaategeezezza nti obutakkaanya wakati wa Kamulegeya n’Omulangira Kassim Nakibinge bugenze bugonjoolwa era Kamulegeya agenda e Kibuli n’asaalira omugenzi Kakungulu buli luvannyuma lwa Juma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...