TOP

Mulekere abantu eddembe - Bp. Semwogerere

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Yalabudde ababaka ba Palamenti okwewala okutaganjula ssemateeka wamu n’abaakoze effujjo mu Palamenti n’agamba nti bino bireeta obunkenke, entiisa n’okusasamaza Bannayuganda.

Bp1 703x422

Bp. Semwogerere ( ku ddyo) ng’atuuza Fr. Sekyanzi ku bwa bwanamukulu w’ekigo ky’e Kalule.

Bya SAMUEL KANYIKE

OMUSUMBA w’essaza lya Kasana - Luweero, Paul Semwogerere avumiridde abaawewenyudde abantu abaabadde bambadde ebimyufu kibooko n’agamba nti kuno kuba kufuga bumbula na kubamalako ddembe lyabwe naddala mu kiseera kino nga tujaguza Ameefuga.

Yalabudde ababaka ba Palamenti okwewala okutaganjula ssemateeka wamu n’abaakoze effujjo mu Palamenti n’agamba nti bino bireeta obunkenke, entiisa n’okusasamaza Bannayuganda.

Yawabudde abantu nti ssinga ababaka banajja okubeebuuzaako ku nsonga z’okukyusa Ssemateeka bababuulire ebituufu ebitajja kutwala ggwanga mu matigga so ssi kulya buli ssente zaabwe.

“Mutulekere eddembe lye twalwanirira emyaka 50 egiyise kuba obwetwaze ssi kwetwala kyokka wabula buli omu kuba n’eddembe lye, si kufugibwa bufugibwa. Omuntu ng’ayambadde enkoofiira oba ettaayi emmyuufu okuba waaki emiggo?”, Omusumba Semwogerere bwe yeebuuzizza.

Yabadde ku mukolo gw’okutongoza ekigo ky’e Kalule mu Luweero ekyakutuddwa ku Waluleeta n’okutuuza Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Emmanuel Sekyanzi Lwevuze n’omumyuka we Fr. Godfrey Serulangira.

Yatenderezza Gavumenti okukola eky’obuzira n’essa mu kasero etteeka lye baali baagala okuleeta ery’obugwenyufu nga bawa abaana kondomu n’empeke eziziyiza okuzaala.

“Omwana ow’emyaka 10 okumuwa kondomu oba empeke ajja kukubuuza nti bino bigasaaki”.

Era onoomuddamu otya? Kuba abeera talina kyategeera era okuzimuwa oba ogenderera ki?

Tulina okunywerera ku mpisa n’obulombolombo byaffe kuba ebintu bijja mpolampola ne byonoona eggwanga lyaffe nga tulaba,” bwe yagambye.

Yasabye Abakristu okukolagana ne bafaaza babawadde okusobola okuzimba omusingi omugumu n’okukulaakulanya ekitundu kino.

Yagambye nti ayagala okulaba ng’omuwendo gw’abakkiriza gweyongera naddala abafuna amasaakalamentu n’okukola emirimi egivaamu ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALEESE GANO...

Museveni afulumizza pulaani kakongoliro ku byokwerinda era n’alangirira nti eby’okutemula Kaweesi y’abyekwatiddemu....

Goba1 220x290

'Abasika mukomye okwezza ebintu...

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu...

Pala3 220x290

Muloope Abapoliisi abeenyigira...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu...

Bika 220x290

UCU erwanira Women's Cup

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu,...

Twala 220x290

Eng'onge eri ku Ngabo

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda...