TOP

Ogwa Besigye ne UBC gugudde butaka

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

OMUSANGO DR. Kiiza Besigye mwavunaanira ttivvi y’eggwanga[UBC] okugaana okulaga obulango bwe mu kampeyini za 2011 gugudde butaka leero ku kkooti enkulu.

Besigyeubc1 703x422

Besigye ku (ku ddyo) ng'ali ne puliida we Ernest Kalibbala

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUSANGO DR. Kiiza Besigye mwavunaanira ttivvi y’eggwanga[UBC] okugaana okulaga obulango bwe mu kampeyini za 2011 gugudde butaka leero ku kkooti enkulu. 

Omulamuzi Margret Oguli owa kkooti enkulu abadde wakuwulira omusango guno leero kyokka looya wa UBC Kiryowa Kiwanuka natumya omubaka mu kkooti okutegeeza omulamuzi Oguli nti tasobodde kubaawo kubanga mulwadde. 

Mu musango guno Besigye avunaana UBC okutwala ssente ze ezisoba mu bukadde 21 bwebakkanya balage kampeyini ze ku ttivvi eno kyokka kampeyini neziggwako nga tebalaze bintu bye ku ttivvi. 

Besigye agamba nti kino kimenya mateeka ga kampeyini kubanga nga ttivvi y’eggwanga, yalina obuvunaanyizibwa bwokulaga kampeyini zaba candidate zonna.

Kati Besigye ayagala kkooti eragira UBC emuddize ssente zeyabawa nga mulimu namagoba era eyise ekiragiro ekigaana UBC okuddamu okusosola muba candidate ababeera bavuggana ku bwapulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...

Newsengalogob 220x290

Njagala ayimba oluyimba lw'eggwanga...

NKOZE ntya mukazi wange asobole okuyimba oluyimba lw’eggwanga ng’aleekaana? LWAKI oyagala aleekaane? Abasajja abamu...

Bata 220x290

Ensobi abavubuka ze bakolera mu...

Ensobi bazikola okusiizira mu kiti mwe bagwa ng’obuyigirize, omulimu n’ebirala nga bino wammanga.