TOP

Museveni asiimye abakoze obulungi mu bizinenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Museveni asiimye abakoze obulungi mu bizinenzi

Tip1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'abakwasa abakozi ba Jude Color Solutions engule

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni atenderezza omutindo gwa kkampuni ezaayolesezza mu mwoleso gwa bannamakolero e Lugogo n’agamba nti omutindo gw’ebintu bye bakola kulaga nga Uganda bw’erina weetuuse naddala mu kukola eby’amaguzi byayo.

 

Mu zimu ku kkampuni ezaanywedde mu bannaabwe akendo mulimu Jude Colour Solutions ekola n’okutunda ebintu eby’enjawulo nga kuliko amannya g’abantu, ebifaananyi, bbaagi, yuniffoomu za kkampuni n’ebintu ebirala bingi.

 

Bano baawangudde engule y’okuba n’eby’amaguzi ebiri ku mutindo, okutegeka omudaala oguli ku mulembe. Aba Movit be baasinze mu byonna.

Pulezidenyi Museveni yagambye nti, “Ensiba embi edibya mutere..... Mmwe abamanyi kye mukola mujja kusigala ku ntikko nga temuyinyikamu mwaka ku mwaka’’. Noolwekyo njagala okwebaza kkampuni eziwangudde olw’engeri gye zisibamu eby’amaguzi byazo nga tekyewuunyisa nti era ze zisinga n’okutunda ku katale ka Uganda n’ebweru.

Mbasaba okukuuma omutindo ogwo kuba Uganda ebeetaaga okulaba ng’etuukiriza ekigendererwa ky’okuggya abantu mu bwavu. (Story n’ebifaananyi bya Herbert Musoke)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...