TOP

Enkaayana za Kibuule bazittiddemu omuntu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2017

Enkaayana za Kibuule bazittiddemu omuntu

Tub1 703x422

Minisita Kibuule

Enkaayana z’ettaka wakati w’abatuuze ne minisita Ronald Kibuule e Buikwe zifiiriddemu omuntu. Abaserikale baamukubye nnyo ekyamuviiriddeko okufa. Dickson Wasswa Mboowa 52, omutuuze w’e Golomolo, mu muluka gw’e Kigaya e Najja mu disitulikiti ye Buikwe ye yafudde mu bulumi.

Y’abadde akulembedde abatuuze abawakanya Kibuule, Minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku by’amazzi, okubasengula ku ttaka. Nnamwandu Nassali Ssanyu yagambye nti ku Mmande nga October 2, 2017, bba abaserikale ba poliisi baamuggye awaka ne bamutwala mu maka ga Bumaali Nsamba naye gwe baakutte.

Baakutte n’abantu abalala babiri- Issa Dewa ne Farouk Sennabulya ne batandika okubakuba. Alumiriza nti abaserikale baabadde mu byambalo era babamanyi. Bakuuma ttaka lya Kibuule. Baabakubye babagamba bave ku ttaka lino bwe baba tebaagala kufuna bizibu bisingawo.

Wadde ng’oluvannyuma bonna baabatadde, kyokka Mboowa yavuddewo ng’akaaba olubuto. Wakati mu bulumi, Mboowa yatuuzizza olukiiko lw’abatuuze okutema empenda mwe banaayita obutagobwa ku ttaka. Enkeera ku Lwokuna nga October 5, baakedde mu kkooti enkulu e Jinja gye baawawaabidde Kibuule omusango gw’okukozesa eryanyi okubagoba ku ttaka lyabwe.

Kibuule baamuwawaabidde ne nnannyini ttaka, Sarah Namasole awamu n’omusigire wa Namasole, Musa Kateregga. Ku Lwokutaano nga October 6, akulira poliisi y’e Bugaya yatumizza Mboowa ne batamusangawo. Bwe yategedde nga bamunoonya ne yeewogomako ewa mukwano gwe. Eno embeera gye yatabukidde ng’olubuto lumuli bubi ne bamuddusa mu kalwaliro k’e Buwooya. Ab’e Buwooya baamusindise mu ddwaaliro eddene e Buikwe.

Eno nabo baamusindise Lugazi akeberebwe. Ab’e Lugazi baamusindise e Jinja ate nabo ne bamwongerayo e Mulago gye yafiiridde ku Ssande nga bukya. Dr. Lulume Bayiga, eyali akiikirira Buikwe South era eyagezezzaako okuyamba abagobwa ku ttaka yagambye nti lipoota eyakoleddwa abasawo yalaze nti ekyenda ky’omugenzi kyayulika, akataago nako kaayabika, amawoowoolo ne ssebusa byabadde byafuna obuzibu nga kyabadde kizibu okuwona.

Nathan Mboowa 72, taata w’omugenzi yagambye nti gye buvuddeko mutabani we yaddukako mu maka ge n’ajja amusenza ewuwe e Kunywa olw’okuyigganyizibwa. Kyokka bwe yazzeeyo ku kyalo ate abamuyigganya ne batandikira we baakoma. Yasabye abazirakisa okubayamba kuba omugenzi alese bamulekwa 12 nga bonna basoma ne bannamwandu bana era bonna beetaaga obuyambi.

Omugenzi abadde ne yiika z’ettaka ttaano ne poloti ya fuuti 50 ku 100 by’abadde alwanirira.

BAGOBYE AMABUGO GA POLIISI Nnamwandu Nassali Ssanyu, yagambye nti oluvannyuma lwa bba okufa, emmotoka za poliisi ssatu z’azze awaka. Baamutegeezezza nga bwe baabadde bavudde mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura era ne bamutegeeza nti baabadde bamuleetedde amabugo ga kakadde kamu.

Kyokka abafamire ssente zino baazigaanyi, kuba baba kuzikkiriza bandibadde ng’abakkirizza nti obulamu bw’omuntu waabwe bugyamu kakadde ka ssente! James Banda, ssentebe w’ekyalo, yagambye nti emabegako ekyalo kubaddeko abaserikale 49, kyokka oluvannyuma lwa Mboowa okufa, kati baakyusiddwa ne baleeta mukaaga.

Gaston Twinamasiko akulira poliisi y’e Buikwe yagambye nti poliisi eyateekebwa e Bugaya tagimanyi era tamanyi ngeri baserikale gye bajjawo. Kyokka ye Nasser Munulo, omubaka wa Pulezidenti e Buikwe yagambye nti poliisi ye yagiteekayo ng’ayagala okutebenkeza ekitundu.

Abatuuze era balumiriza n’omubaka waabwe Ronnie David Mutebi okudda ku ludda lwa Kibuule mu kunyigirizibwa kwe balimu.

OBUTAKKAANYA KU TTAKA LINO Ettaka lino lyali lya Namasole Sarah Natoolo era abatuuze baludde nga gwe bamanyi nti ye landiroodi waabwe. Ono yali yateekawo omusigire Musa Kateregga nga y’alabirira ettaka lino era ng’abatuuze okumala ekiseera gwe baali bawa busuulu. Kigambibwa nti Namasole ng’ali ne Kateregga baaguza Kibuule ettaka lyabwe, kyokka ng’abeebibanja abaliriko tebamanyi. Kibuule n’atandika okukozesa eryanyi okulibagobako.

Baategeezezza nti mu August wa 2017, Kibuule aliko abaamagye ne poliisi be yayiwa mu kitundu ne batandika okubatulugunya bave ku ttaka lino. Abatuuze baategeezezza nga bwe batayinza kumala gava ku ttaka kubanga babadde basasula Namasole obusuulu n’abawa ne lisiiti.

'KIBUULE YEEGAANYI EBY’OKUTULUGUNYA ABANTU

Kibuule bwe yatuukiriddwa yeesammudde eby’okutulugunya abantu n’asaba poliisi okukwata omuntu yenna agambibwa okuba nga yabadde mu kukuba Mboowa. Yagambye nti eby’okutulugunya abantu talina ky’abimanyiiko.

Era awagira okuvunaana omuntu yenna ne bw’abeera muserikale nga yeenyigidde mu bikolwa ebimenya amateeka.

OMUBAKA W’EKITUNDU AYOGEDDE

Ronnie David Mutebi (Buikwe South) yagambye nti bwe yamanya ku by’enkaayana, yayita nnannyini ttaka n’amusisinkana ku Palamenti. Abantu abaakiikirira Namasole, kyamwewuunyisa okuba nga baali tebamanyi muntu alabirira ttaka lyabwe. Oluvannyuma yategeka olukiiko ku kyalo olwetabwamu ne Kibuule. Yategeeza abantu bonna abaalulimu nga bwe watali wa kibanja ateekeddwa kugobaganyizibwa okusinziira ku tteeka. Olukiiko lwaggwa abasenze abategeezezza nti nnannyini ttaka omutuufu bw’anaavaayo gwe balina okutegeeragana naye.

Mutebi yagambye nti yaddamu okuwulira nga ttiimu ya Namasole egamba nti terina buzibu na Kibuule era ne basaba abatuuze okutegeeragana naye. Bulijjo abadde amanyi nti enteeseganya zigenda mu maaso, okutuusa ennaku bbiri emabega bwe yawulidde amawulire g’okufa kw’omutuuze gwe baagambye nti yattiddwa ng’obuzibu buva ku ttaka. Oluvannyuma lwa Mboowa okufa, Mutebi yagambye nti yawandiikidde Gen. Kale Kayihura ayingire mu nsonga zino.

Era wadde yabaweerezza abantu b’okubayamba, kyokka bazze ku lunaku lwa kuziika olukiiko ne lutasobola kubeerayo. Yasuubizza okutegeka olukiiko olulala mu bwangu.

EMIVUYO KIBUULE GY’ABADDEMU

l Ku Lwokubiri nga September 26, 2017 Kibuule yayingiza pisito mu lutuula lwa Palamenti ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka. Sipiika yamuwa ekibonerezo kya kumala entuula ssatu nga tagenda mu Palamenti. l Nga August 29, 2016, omukuumi wa Bbanka, Hellen Obuku yalumiriza Kibuule okumukuba bwe yali amwaza nga tannaba kuyingira mu Stanbic Bank e Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...