TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bafumise omukuumi wa St Andrew's Church Bukoto ebiso

Abatemu bafumise omukuumi wa St Andrew's Church Bukoto ebiso

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2017

Abatemu bafumise omukuumi wa St Andrew's Church Bukoto ebiso

Bik1 703x422

ABABBI bafumise   akulira abakuumi b’ekkanisa ya St Andrew e Bukoto  bw’abadde agezaako okubalwanyisa nga batikka bye babbye mu kkanisa.
 
Bamuleese aliko kikuba mukono wakati mu kufuuwa omusaayi kwe kutwala ebintu bya Kanisa ebibalibwa mu bukadde era poliisi y'emutaasizza okumutwala mu ddwaliro.
 
Enock Mugandage omutuuze we Kamwokya y'agudde ku kyokya bw’alumbiddwa ekibinja ky’ababbi abalumbye ekkanisa y'e Bukoto kwe kumutemaatema  n’azirika.
 
Bino by'abaddewo ku saawa musanvu ez’ekiro ku kanisa ya St.Andrew esangibwa e Bukoto ababbi bwe bamenye nga baagaala okutikka ebintu bya kkanisa omuli entebe n’ebirala wabula Mugandage yabadde agezaako okubalwanyisa kwe kumukukuba n’okumufumita ebiso.
 
Kigambibwa nti ababbi  basoose kusooberera basirikale  nga balya eky’eggulo mu kisenge we b’eyambulira kwe kubakubamu kalifoomu eyab’ebasizza.
 
Bamenye oluggi omukuumibwa ennanga, engoye z’abayimbi n’ebintu eby’omuwendo ebirala kwe kutandika okubifulumya nga babitikka kyokka wakati mu kusooberera Mugandage eyabadde aliko we y’ekukumye kwe kufubutukayo n’abambalira kwe kumufumitan’okumukuba olwo ne babulawo n’omunyago.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buzo1 220x290

Omuwendo gw'abawala abatudde S.6...

Janet Museveni minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo yennyamidde olw’omuwendo gw’abayizi abawala abaatudde S6 ogukendedde....

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...

Linda1 220x290

Abadde yeerimbika mu banene n’abba...

POLIISI ekutte omuvubuka abadde yeerimbika mu byokwerinda n’okweyita owooluganda lw’abantu ababa bategese emikolo...

Pala 220x290

Omujulizi aguddemu ekidumusi omusango...

OMUJULIZI abadde azze okulumiriza Abasiraamu mu musango gw’obutujju n’okulya mu nsi olukwe alumbiddwa embiro kkooti...