TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Kibuule ayogedde ku bimwogerwako ebirimu n'okutta omuntu

Minisita Kibuule ayogedde ku bimwogerwako ebirimu n'okutta omuntu

By Henry Nsubuga

Added 12th October 2017

Minisita Kibuule ayogedde ku bimwogerwako ebirimu n'okutta omuntu

Kib1 703x422

Minisita Kibuule ng'annyonnyola

MINISITA omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule yeegaanye ebimwogerwako nti abasirikale abamukuuma baatulugunya omu ku batuuze abali ku ttaka lye eriri ku mwalo gw’e Kigaya mu ggombolola y’e Najja mu disitiliti y’e Buikwe.
 
Dick Wasswa nga y’omu ku batuuze abali ku ttaka kibuule ly’e yagula nga kuliko abantu kigambibwa nti nga October 2, yakwatibwa abasirikale abali ku ttaka lino ne bamutulugunya nnyo ne banne nga bwe yatwalibwa mu ddwaliro e Mulago n’afa nga October 8. 
 
Abatuuze abaakungaanye mu kuziika Wasswa baalumirizza Kibuule okubatulugunya ng’ayagala babe ku ttaka nga tebaliyiriddwa nga kye kyaviiriddeko me munnaabwe okukubibwa n'afa.
 
Kibuule agamba nti ebimwogerwako matu ga mbuzi gennyini agamusibwako abaagala okumwonoonera erinnya.

“Nze kituufu nnina ettaka eriwezaako yiika 85 nga ndirinako n’ekyapa nga lino naligula ku nnanyiniryo Musa Kateregga.

 
Ebikolwa ebyakoleddwa abapoliisi sibimanyi era abo si be basirikale abankuuma nga bwe bizze byogerwa. Abaakoze ekikolwa ekyo nsaba bavunaanibwe ng’amateeka bwe galagira kuba teri ali waggulu wa mateeka,” Kibuule bw’annyonnyodde mu lukiiko lwab’amawulire lw'atuuzizza mu maka g’e Mbalala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
 
Kibuule era agambye nti ab’ebibanja abali ku ttaka lye abamanyi nga talina gw’agoba nga ku bano aliko be yateesa nabo n’abasasula n’okubasasula bbo bennyini ne beemenyera n'amayumba gaabwe ne bagenda.
 
Agamba nti abasigadde abali mu 100 baatannatuuka ku kukkaanya nabo tavangayo kubagoba ku ttaka nga bakumibwamu muliro bannabyabufuzi omuli n’eyali omubaka wa Buikwe South mu paalamenti n’agwa, Dr. Lulume Bayiga. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...