TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi alagidde abagambibwa okutta Kaweesi babaliyirire

Omulamuzi alagidde abagambibwa okutta Kaweesi babaliyirire

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2017

Omulamuzi alagidde abagambibwa okutta Kaweesi babaliyirire

Mit1 703x422

Abamu ku bagambibwa okutta Kaweesi abagenda okuliyirirwa nga bava ku kkooti

Bya Alice Namutebi

KKOOTI enkulu eragidde gavumenti okuliyirira abasibe 22 abaakwatibwa ku musango gw’okutta afande Andrew Felix Kaweesi n’obukadde 80 eri buli omu olw’okubatulugunya.

Omulamuzi Margret Oguli okuyisa ekiragiro kino asinzidde ku lipooti okuva mu basawo ba African Centre for Treatment and Rehabilitation of torture victims e Kamwokya abeekebegya abasibe ne babasangako ebiwundu nga abamu ebitundu by'omibiri gyabwe ebimu tebikyakola bulungi.

Omulamuzi Oguli agambye nti abasibe bakwatibwa n'eryanyi okuva mu maka gaabwe nga balamu bulungi kyokka kati kyewunyisa okuba nga abamu bawenyera, abamu batambulira ku miggo ekintu ekiraga nti batulugunyizibwa mu ngeri ez'enjawulo embeera etyoboola ekitiibwa kyabwe.

Oguli alagidde abasibe bonna batwalibwe mu ddwaliro bajjanjjabibwe era eddwaliro liweereze lipooti ku mbeera gye balimu buli mwezi wabula n'agaana okubata nga bwebaali basabye nga agamba nti bakyalina omusango gw’okutta Kaweesi gwe bavunaanibwa.

Bano okutuuka okufuna obuweerero buno bayita mu looya waabwe Radilus Rwakafuzi ne bategeeza kkooti nga bwe batulugunyizibwa nga bali ku poliisi ezenjawulo Gavumenti ne byewakanya ekyawaliriza omulamuzi Oguli okulagira batwalibwe mu ddwaliro bakeberebwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...