TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Disitulikiti Khadi w'e Lwengo alabudde ku masomero g'obusiraamu agatalina bisaanyizo

Disitulikiti Khadi w'e Lwengo alabudde ku masomero g'obusiraamu agatalina bisaanyizo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2017

Disitulikiti Khadi w'e Lwengo alabudde ku masomero g'obusiraamu agatalina bisaanyizo

Lab1 703x422

Bya Florence Tumupende

DISITULIKITI Kadhi w’e Lwengo Sheikh Juma Muweesi atabukidde ku mukolo gw’okusabira abayizi abagenda okukola ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebitandika ku mmande n'ategeeza nga bw'akooye okukulembere obusomero bw’abasiraamu og’obwannanyini obutandikawo nga tebulina bisanyizo.


“Nkooye okubeera mu ddukadduka nga mwenjerera mu wofiisi yange nti Kadhi ntaasa akasomero kange bakaggadde,bw'emuba nga mugatandikawo nga temumpita?


Mwe abavudeko okuswaza eddiini y’obusiraamu nga musasamaza eggwanga n’obusomero bwe biwempe nga tebulina kaabuyonjo .

Ngenda kukulemberamu ekikwekweto ky'okuggala amasomero g'obusiramu agatalina bisaanyizo nga ndi wamu n'abakulira  eby'enjigiriza mu Lwengo" Sheikh Muweesi bwategeezeza

 

Okwogera bino asinzidde ku kitebe ky’obusiraamu e Lwengo awakungaanidde  amasomero aga siniya ne Pulayimale agaweredde ddala 30 agagenda okukola ebigezo byabwe ebyakamalirizo,n'asaba abakulu b’amasomero abalina obusomero obugwa mu kiti kino okwetereeza ng’olusoma lwa ttaamu esooka mu 2018 nga telunatuuka.

Mungeri y’emu akubirizza abasomesa obutageza kuwuddiisa baana baabwe nga babakopera ebibuuzo kyagambye nti kiyinza okuvaako okukwata ebigezo by’abayizi awamu n’okugalawo amasomero gabwe.

Amasomero agali kumusingi gw’obusiramu okuva mu magombolola munaana agakola disitulikiti eno gegetabye mu kusaba okubadde Mbiriizi Moslem High SS,Nakateete Moslem p.s,Rahman Isamic p.s n'amalala.


     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono