TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ennyonnyodde lwaki yayimirizza ekivvulu kya Bobi Wine e Kamuli

Poliisi ennyonnyodde lwaki yayimirizza ekivvulu kya Bobi Wine e Kamuli

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2017

Poliisi ennyonnyodde lwaki yayimirizza ekivvulu kya Bobi Wine e Kamuli

Wi2 703x422

Ekipande ekyabadde kiranga ekivvulu kya Bobi Wine e Kamuli.

POLIISI nga tennalangirira nti ebivvulu bya Bobi Wine byonna e Kamuli mu Busoga biyimiriziddwa, abaserikale baasoose kutimbulula bipande byonna eby’omubaka wa Kyaddondo East.

Abaatimbudde ebipande baabadde n’emmundu nga batambulira ku kabangali ya poliisi, era kino kyatiisizza abawagizi ba Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abaabadde bagezaako okuwakanya eky’okutimbula ebipande by’Omubanda wa Kabaka! Abapoliisi baabadde bakulembeddwaamu Miriam Kayizzi, akulira ebyokwerinda mu Munisipaali y’e Kamuli.

Abawagizi ba Bobi Wine bwe baalabye ng’ebipande bitimbululwa n’okuyuzibwa ate ng’ababiyuza balina emmundu, baatandise okuwereekereza abatimbi ebigambo nga babalangira okubalemesa okufuna essanyu n’okwonoona amafuta ga poliisi. Obwedda bakolokota poliisi nti: Bwe tuleeta emisango ku poliisi mutugamba Paatulo teziriimu mafuta, kati ago amafuta ge mwokya mugaggye wa? Karim Babite Kasolo yeewuunyizza poliisi olw’obwangu bwe baakozesezza mu kutimbula ebipande nga bulijjo babayita nga waliwo obuzibu ne bamala essaawa ezisukka ebbiri nga tebannaba kutuuka.

Ekivvulu eky’amaanyi e Kamuli Bobi Wine ky’abadde ategese kibadde kyakubeerawo nga October 20, 2017 mu kisaawe ky’e Kamuli.

LWAKI POLIISI YAYIMIRIZZA BOBI WINE

Poliisi egamba nti mu kutegeka ekivvulu mu kisaawe ky’e Kamuli, abategesi tebaategeeza poliisi ng’etteeka erifuga enkuhhaana (Public Order Management Act) bwe ligamba.

Wabula abategesi b’ekivvulu bagamba nti baali baafuna olukusa okuva ku munisipaali ne basasulayo ne ssente bwe baali tebannaba kutandika kutimba. Beewuunyizza engeri poliisi gye yakwataganye ne Munisipaali ne bajja okutimbula ebipande nga tebamaze na kubategeeza. Mariam Kayizzi bwe yabuuziddwa ekyabayuzisizza ebipande yagambye nti ebiragiro byavudde wa muduumizi wa poliisi mu disitulikiti eyabategeezezza nti ekivvulu tekyagoberera mateeka era kirina okuyimirizibwa.

Collins Kyasimire, aduumira poliisi y’e Kamuli yagambye nti ekivvulu kyayimiriziddwa oluvannyuma lw’okwekengera nti kiyinza okwetabikamu ebyobufuzi, ekintu ekiyinza okuleeta okusasamaza n’okutabangula emirembe e Kamuli.

Wiiiki ewedde, olukuh− haana lw’omubaka Winnie Kiiza (akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti) olwabadde lutegekeddwa e Kasese lwayimiriziddwa oluvannyuma lw’okukitegeera nti bannabyabufuzi okuli ne Bobi Wine baabadde baakulwetabamu.

Mu kiseera kino Bobi Wine atunuuliddwa ng’omu ku balina amaanyi ku ludda oluvuganya gavumenti era azze awandiika ng’alaga ebitagenda bulungi mu ggwanga era nga Pulezidenti Museveni amwanukula.

Y’omu ku bakutte omumuli gw’okuwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka 75 egy’omuntu aneesimbawo ku Bwapulezidenti era atunuuliddwa ng’alina ebigendererwa ebivuganya ku kifo kye kimu mu 2021. Okufaananako Amama Mbabazi bwe yali mu 2015, Bobi Wine poliisi yamugaana e Mbale; bazzaako kumugaana Nakaseke, ne bamugaana mu bukiikakkono ne Kasese era bazzizzaako Kamuli.

BOBI WINE AYOGEDDE Kyokka Bobi Wine yagambye nti waakugenda e Kamuli kubanga ekimutwalayo kuyimba ate wadde mubaka, naye omulimu gwe gusigala nga gwa kuyimba era akimanyi nti ekivvulu kyategekebwa kigoberedde mateeka.

Yagasseeko nti bino bikolebwa olw’okutya kampeyini ewakanya emyaka kyokka tebagenda kukoowa. Eggulo ababaka ba NRM abawakanya eky’emyaka bataddewo obukwakkulizo oludda lw’aba NRM abawagira bwe balina okukolako nga tebannaba kutandika nteeseganya yonna omuli obutasisinkana babaka ssekinNoomu okuggyako nga bonna bali wamu n’enteeseganya okubeera mu kifo eky’olukale era nga zirina kubeerawo budde bwa misana.

Kyokka era eggulo omubaka Raphael Magyezi (Igara West) eyaleeta ebbago ly’okukola ennongoosereza mu nnyingo 102 (b) eruubirira okuggyawo ekkomo ku myaka yategeezezza nti waliwo abantu abamuweereza obubaka ku ssimu obumutiisatiisa era yaloopye ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi