TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB eweerezza abasirikale mu bitundu abagenda okukuuma ebigezo

UNEB eweerezza abasirikale mu bitundu abagenda okukuuma ebigezo

By Herbert Musoke

Added 12th October 2017

UNEB eweerezza abasirikale mu bitundu abagenda okukuuma ebigezo

Ug1 703x422

KITONGOLE kya UNEB kisindise abaserikale n’abalondoola ebigezo by’omwaka guno 1,650 okwetoloola eggwanga lyonna okukakasa nga tewali muntu n’omu yeenyigira mu kubba bigezo ebitandika enkya.

Dan Nokrach Odongo, omuwandiisi wa UNEB agamba nti baakwataganye ne poliisi n’ebawa abaserikale abagenda okubeera mu yunifoomu n’abali mu leeya okulondoola ebifo byonna omukolerwa ebigezo obutabeerawo kubba bigezo kwonna.

Ebigezo bya O-Level (UCE), bitandika enkya ku Lwokutaano nga October, 13 n’okubuulirira abayizi ku masomero gonna olwo ku Mande nga October, 16 abayizi batandike okuwandiika empapula zaabwe okutuuka nga November, 20.

Abayizi 326,149 beebagenda okukola ebigezi bya UCE, nga ku bano 165,397 balenzi ate 160,752 bawala nga ku bano 151,894 bava mu masomero ga gavumenti (USE) ate 174,255 bavudde mu masomero ga bwannanyini nga bano bavudde mu masomero okukolerwa ebigezo 3,568 ate ng’abayizi ku mitendera gyonna okuva ku PLE, UCE ne UACE abayizi 1,073,715 beebagenda okutuula ebigezo omwaka guno.

ACP Godfrey Maate akola n’ekitongole kya UNEB agamba nti poliisi ekwatagana bulungi n’ekitongole ky’ebigezo era nga bagenda ku kuuma ebigezo okuviira ddala ku kitebe kya UNEB okutuuka mu bifo we bikolerwa n’okuzza empapula z’abayizi ze bawandiseeko era nga tugenda kuwaayo ebikozesebwa omuli mmotoka, pikipiki ne namunkanga okuyambako okutambuza empapula mu masoso g'ebyalo n'ebifo ebirabika nga bikalubye okutuukamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo