TOP

Embwa zitaamye zirumye omwana omulala e Lugazi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2017

EMBWA ezirudde nga zeeraliikiriza abatuuze b’e Lugazi zivumbikkiriza omwana ow’emyaka 10 ng’ava mu Klezia ne zimuluma okutuusa bwe zimusse.

Arthur1 703x422

Kizza ( ku ddyo) ng’ali ne bafaaza mu Mmisa.

Bya MUKASA KIVUMBI

EMBWA ezirudde nga zeeraliikiriza abatuuze b’e Lugazi zivumbikkiriza omwana ow’emyaka 10 ng’ava mu Klezia ne zimuluma okutuusa bwe zimusse.

Banne bwe baabadde baakubye enduulu, abatuuze ne bazigoba ne zidduukira mu nsiko kyokka nga zimaze okumutta.

Kino si kye kitundu ekisoose okulumbibwa embwa nga zaasooka kulumba Masaka ne ziruma abaana babiri abaali bagenda okusoma nga bakyajjanjabirwa mu ddwaaliro e Masaka. E Mayuge zaaluma abaana munaana nga nabo bakyali mu ddwaaliro.

Eyafudde ye Arthur Kizza, mutabani wa Justine Nabawanuka ow’e Nakazadde mu Lugazi Central nga kitaawe ye Ssaalongo Gerald Kanyiri ow’e Kikawuula mu disitulikiti y’e Buikwe Kizza abadde amanyiddwa mu Klezia y’e Lugazi olw’obutasubwa Mmisa.

Yalwala omusujja ng’akuze ne gumugaana okwogera ng’abadde atandise okuddamu okwogera.

 abawanuka maama wa izza  ku kkono ngakaabira omwana we Nabawanuka, maama wa Kizza ( ku kkono) ng’akaabira omwana we.

 

Abakristu e Lugazi babadde bamumanyi kuba abadde bw’abeera mu Mmisa atuula kumpi ne bafaaza nga bwe yazzeemu okwogera ebiseera ebisinga abadde abimala ng’ayimba ennyimba z’eddiini.

Fr. Ignatius Kibowa, Bwanamukulu wa Lugazi bwe yali ajaguza emyaka 25 mu busasodooti Kizza yatuula ku Wolotaali Faaza Kibowa ayogedde kumugenzi ng’omwana abadde omulungi eri Klezia era nti baakulwawo nga bamujjukira kuba bagenda okuggulawo Klezia buli ku makya bamusanga ku mulyango ng’alinze Mmisa okutandika.

Omugenzi embwa zaamusse kawungeezi k’olunaku Lwokusatu.

`Nabawanuka, maama w’omugenzi yagambye nti enkuba yabadde etonnya n’alemererwa okuzuukuka kyokka olwakedde n’adduka okugenda mu Mmisa nga yagenze okuddamu okumuwuliza nga bamugamba nti embwa zimulumye n’afa.

Joweria Nakaye, muliraanwa wa Nabawanuka yagambye nti yawulidde enduulu n’adduka okulaba ekiguddewo n’asanga embwa nnyingi nga zisika omwana era abavubuka be bazze ne bazigoba kyokka nga zimaze okumutta.

Abatuuze baakutte emiggo n’amayinja ne batandika okuyiga embwa kyokka ne zibabula.

Baagambye nti baludde nga bategeeza abakulembeze baabwe ku mbwa ezibatigomya kyokka ne batabaako kye bakola. Meeya wa Lugazi Munisipaali, Deo Tumwesigye Mbabazi alabudde abalina embwa nga tebazirabirira nti zaakuttibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...