TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulangira Kasimu Nakibinge akubirizza abasiraamu okukuuma ebyabwe

Omulangira Kasimu Nakibinge akubirizza abasiraamu okukuuma ebyabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2017

Omulangira Kasimu Nakibinge akubirizza abasiraamu okukuuma ebyabwe

Ku1 703x422

JJAJJA w'obusiraamu mu ggwanga Al Haaji Dr.Kassim Nakibinge asabye abasiraamu okukuuma ebintu byabwe ssaako okuddaabiriza ebyo bye baba babalekedde kiyambe n'abalala okusobola okubisangawo .

Bino omulangira Nakibinge yabyogeredde Mende mu Wakiso ku Lwokutaano bwe yabadde aggulawo omuzikiti ogwabbulwamu ssekabaka Kalema ogwa ssekabaka Nuhu Kalema Memorial Mosque.

Omulangira Nakibinge era asabye abantu okulowooza ennyo ku nsonga z'ebyobufuzi nga tebannasalawo nga wano yebazizza nnyo omubaka wa Busiro East mu palamenti, Medard Sseggona olw'okuvaayo nateegeza abalonzi be nga bwatawagira kukyusa mu ssemateeka wa ggwanga alagira okukyusa emyaka ku besimbawo ku bukulembeze bwe ggwanga nasaba abalonzi okumwongera akalulu mu mwaka gwa 2021.

Ye loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago yennyamidde olw'abo abavuddeyo ne bakyusa ssemateeka kye yagambye nti kino kigenda kukomyawo okuyiwa omusaayi mu ggwanga.

"nze ntunulira ebintu ebiri mu ggwanga ne nneewunya kuba bwovaayo noyonoona ssente nti ogula pen za mitwalo 35 ate nomala nogabira ababaka ssente mbu bakyuse mu ssemateeka kiraga nti eggwanga ligenda kuddayo emabega gye lyava. " Lukwago bwe yategezezza.

Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika asabye gavumenti okukomya okusasanya ssente mu bintu ebitaliimu wabula eziteeke mu bintu ebiyamba eggwanga.

"nze nsoberwa bw'okwata ssente n'oziwa ababaka bazitwale mu bitundu byabwe okubebuzaako ku kya ssemateeka ate nga amalwaliro temuli ddagala, amasomero tegalina bikozesebwa ate nga n'abantu mu byalo babonabona n'ekizibu ky'amazzi era nsaba gavumenti yekube mu mutima erowooze ku bantu kuba enteekateeka y'okukyusa ssemateeka ffe tetugiwagira" Bwanika bwe yategezezza.

Ku mukolo guno omubaka wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona yasabye abalonzi be obutetantala kuwagira kukyusa mu ssemateeka  akyusa akawayiro 102b kuba omuntu emyaka gye bwe giba giweddeyo alina okuvaawo n'abalala ne bakulembera.

 

Omukolo gw'okuggulawo omuzikiti guno gwaakulemeddwamu omulangira Kassim Nakibinge ng'ali wamu ne supreme mufti wa Uganda sheik Kasule Ndirangwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke