TOP

Avudde mu bbaala n’atuga muwala we

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2017

SSEMAKA avudde mu bbaala ng’atamidde ku mwana we kw’atuukidde n’amutuga n’amutta.

Nabatanzi1 703x422

Bbebi Nabatanzi eyatugiddwa.

Bya JOHN KATENDE

SSEMAKA avudde mu bbaala ng’atamidde ku mwana we kw’atuukidde n’amutuga n’amutta.

Pretty Nabatanzi wa myezi kkumi, yatugiddwa kitaawe Itiko Sserunjogi 29, omutuuze mu Kamwanyi – Katale Zooni e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Sserunjogi ng’ali mu bbaala obwedda agamba nti, ewaabwe waliwo eyazadde abalongo kyokka omu ne bamutta.

Ku ssaawa nga 7:00 yatuuse awaka n’akonkona omukyala n’amuggulira kwe kumubuuza nti, ‘era ozzeemu okunywa omwenge?’ omwami eyabadde ayogeza ettamiiro n’amugamba nti, toddamu okumbuuza.

Olwayingidde obuliri kwe kulagira mukyala we Gloria Nabatte asule wansi n’abaana be wabula bwe yabadde aggya omwana mu buliri amusse wansi ate n’amugaana.

Ekyaddiridde ye mwana okukaaba emirundi ebiri gyokka n’asirika! Olwo ng’amaze okumutta.

 serunjogi eyasse muwala we Sserunjogi eyasse muwala we.

 

OMUKYALA ASIMATTUKA OKUFA

Nabatte annyonnyodde nti, yakoleezezza ettaala yagenze okulaba nga bba asse omwana waabwe. Mu kaseera kano yamugambye nti, “ggwe ddako.”

Awatali kulonzalonza yamugudde mu malaka kyokka n’asonda amaanyi okumwetakkuluzaako.

Agamba yaddukidde ku muliraano era okukomawo baasanze mu nnyumba.

Poliisi bwe yayitiddwa yamenye oluggi Sserunjogi ne bamusanga nga yeebase, tamanyi biri ku nsi.

Yagenze okuzuukuka ng’ali ku poliisi.

Baamubuuzizza ebimutuuseeko n’abagamba nti, bankutte ‘ayido’.

Ssentebe w’ekyalo Paul Jjuuko agamba nti, bwe baamukubidde essimu ku ssaawa nga 9:00 ekiro yatuuseewo embeera n’emusobera kwe kuyita poliisi y’e Semuto eyazze mu bwangu okukwata omutemu.

Omulambo gw’omwana poliisi yagututte mu ddwaaliro e Semuto.

DPC wa Nakaseke Justus Asiimwe, yategeezezza nti, Sserunjogi baamukutte kyokka engeri okunoonyereza gye kugenda mu maaso tagenda kwogera ku ttemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo