TOP
  • Home
  • Amawulire
  • EBYENFUNA BIKAAYE; Bosco Muwonge atunze ebizimbe 6

EBYENFUNA BIKAAYE; Bosco Muwonge atunze ebizimbe 6

By Joseph Makumbi

Added 14th October 2017

OMUGAGGA Bosco Muwonge atunze ebizimbe bibiri omulundi gumu, abasuubuzi ababadde babikolerako ne batandika okwewuunya ekigudde ku musajja gwe baludde nga bamumanyidde mu kugula, si kutunda!

Bizimbe1 703x422

Kino kye kyali kiyitibwa Stone Corner ku Kalittunsi.

Bya JOSEPH MAKUMBI NE RONALD MUGENYI

OMUGAGGA Bosco Muwonge atunze ebizimbe bibiri omulundi gumu, abasuubuzi ababadde babikolerako ne batandika okwewuunya ekigudde ku musajja gwe baludde nga bamumanyidde mu kugula, si kutunda!


Ebizimbe yabiguzizza Daudi Mutebi era bwe yamaze okubisonjola, n’assaawo obukwakkulizo obupya omuli n’okupaaza ssente z’obupangisa.

Abakugu bagamba nti, embeera y’ebyenfuna ekalubye, eremesezza abantu bangi okusigala nga bakyafuna ensimbi ze basobola okuzza mu bbanka mu mitemwa emituufu gye baabagerekera nga beewola, okukkakkana nga batunze ebintu byabwe okwetaasa ku bbanja lya bbanka.

Kyokka abakugu abalala bagamba nti embeera y’ebyenfuna buli lw’ekaluba, ayanguye okutunda y’afunamu kubanga oyo abeera aguze akaluubirirwa okuggyayo ssente z’aba yagula era n’okufuna abapangisa ekizimbe kyonna okukijjuza kuba kusiitaana kubanga ssente mu bantu zibeera ntono.


ENGERI MUWONGE GY’AZZE ATUNDA EBIZIMBE
Muwonge yasoose kutunda Boost House ku William Street n’akiguza Daudi Mutebi era waayise akaseera katono n’amuguza ne Premier Center ku Nabugabo.
Ddiiru z’ebizimbe byombi, zibalirirwa mu bukadde bwa ddoola obusoba mu 10 okusinziira ku bamuli okumpi.


Mu bbanga lya mwaka gumu gwokka, Muwonge atunze ebizimbe mukaaga okuli;

1 Jumbo Arcade ku Nakivubo Road, kye yasooka okutunda n’akiguza Mansoor Yanga.
2 Boost House ku William Street, yakiguzizza Daudi Mutebi.
3 Stone Corner ku Kalittunsi yakitunzeeko ekitundu n’akiguza Ephraim Ntaganda.
4 Superior Complex ku Ben Kiwanuka yakiguza Daudi Mutebi
5 Premier Center kye yasembyeyo okuguza Daudi Mutebi.
6 Nabugabo Building ekiriraanye Gagaggawala ekitunudde mu 888 Hotel ku Nabugabo nakyo yakiguzizza Daudi Mutebi.


Ku bizimbe mukaaga Muwonge by’atunze, Daudi Mutebi aguzeeko bina era kati y’abisoloozaamu ssente z’obupangisa nga ne wiiki ewedde, abasuubuzi abakolera ku Premier Center nga bakulemberwa ssentebe waabwe, Henry Nsimbe beekalakaasizza oluvannyuma lwa Mutebi okubongeza ssente z’obupangisa.

 umbo rcade kyagulibwa ansoor anga Jumbo Arcade kyagulibwa Mansoor Yanga.

 


LWAKI MUWONGE ATUNZE EBIZIMBE?
Ensonga ezitunza Muwonge ebizimbe buli omu azitaputa bubwe. Abamu bagamba nti yayingira bizinensi y’okukola amajaani kyokka yeetaaga ensimbi mpitirivu okuzissa mu “fakitole” y’amajaani; ate abalala ne bagamba nti engeri gye yagula ettundutundu eddene mu Kisenyi, yeetaaga ssente nnyingi okukulaakulanyaawo.


Bangi bagamba nti ebbanja lya bbanka limubuzizzaako obwekyusizo; kyokka waliwo n’abagamba nti yamaze kulaba nga ssente eziva mu “akeedi” zikendedde olw’embeera y’ebyenfuna eriwo; nga n’amaduuka agamu tegaliimu bapangisa, olwo n’asalawo atunde akole ebinaavaamu ssente ezeegasa.


Wabula Billy Mulindwa amanyiddwa nga Tamukedde maneja addukanya ebizimbe bya Muwonge, yategeezezza Bukedde nti, abantu bangi boogera ebitaliiko mitwe na magulu n’agamba nti omuntu okuzimba ekizimbe abeera mu bizinensi era bw’afuna omuguzi amuwa ssente ng’akibaze nti afuna amagoba ageegasa, ng’atunda.

Yagambye nti ne bwe kiba kya bbanja, “Omuntu bw’atunda ekizimbe kye okusasula ebbanja kibeeramu kabi ki?”

“Ensonga omugagga kwe yasinzidde ne mukyalawe okugamba nti, batunde sisobola kugimanya ne bwe mba muganda we naye asobola okutunda n’agamba nti ka ngule awalala awakola okusingako oba ssente n’aziteeka mu kintu ekirala.” Tamukedde bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, talaba nsonga lwaki abantu bafaayo nnyo omuntu ng’atunze ekikye n’ategeeza nti omuntu okutunda ekimu ku bibye tekitegeeza nti abeera aweddemu!

Yakkaatirizza nti, “Ne bw’abeera atunze ekizimbe oba ettaka ssente n’azigulamu emmotoka, aba alina ky’alabye ky’eyinza okumugasa okusinga ekizimbe.”

Wabula waliwo abagamba nti abagagga okutunda ebizimbe, olumu bakikola ng’akakodyo k’okwongeza ababikoleramu ssente z’obupangisa nti era mu nkola eno, empapula z’obwannannyini tezikyusibwa; wabula bino Tamukedde nabyo yabisambazze n’aluyita lwali lwa Bannakampala.

 mugagga audi utebi Omugagga Daudi Mutebi

Mu May w’omwaka guno, Muwonge yagugulana nnyo n’abasuubuzi be yali ayongezza ssente z’obupangisa ku Boost House era mu kwekalakaasa okwaliwo ne battirawo n’omuntu.

Oluvannyuma poliisi yategeka olukiiko lw’abasuubuzi mu kibangirizi kya Ssemateeka, era baawaliriza Muwonge okulwetabamu wabula ne balemwa okukkaanya.

Abakayita akakodyo k’okwongeza ebisale, bakeesigamya ku kino. Bagattako n’ekirala ekigamba nti; ng’abasuubuzi baakanjulirwa

Mutebi azze n’obukwakkulizo

DAUDI Mutebi olwamaze oku­gula ebimu ku bizimbe bya Mu­wonge n’assaawo obukwakkulizo ku babikoleramu era n’awa eki­ragiro nti, “Atasobola wa ddembe okunoonya ekizimbe ekirala”

Eno y’embeera eyavuddeko abasuubuzi ku Premier Centre okwekalakaasa nga October 2, 2017 nga bawakanya okubongeza ‘lenti’ ate ng’agezaako okwekubi­ra enduulu, alagira ne baggalawo edduuka lye.

Okwekalakaasa nga tekun­nabeerawo, baasooka kug­galawo dduuka lya ssentebe w’abasuubuzi abakolera ku kizimbe ekyo, Micheal Nsimbe gwe balumiriza nti yali akuma omuliro mu basuubuzi.

l Mu nsengeka y’emiwendo gye yayanjulidde abasuubuzi; abafumbirako caayi ababadde ba­sasula 50,000/- buli mwezi yaba­linnyisizza n’abassa ku 600,000/-. Aba Mobile Money ababadde basasula 150,000/- yabalinnyi­sizza okutuuka ku 600,000/- ate amaduuka amanene agabadde gasasulirwa 2,700,000/- gaatuuse ku 3,700,000/-

lYagaanyi ab’amaduuka okuteeka ebintu ku miryango gy’edduuka n’ebweru (display) okuggyako nga bamaze kusasula ssente ez’enjawulo.

lKaabuyonjo yazirinnyisizza okuva ku 300/- ne zidda ku 500/- buli lw’ogendayo.

lAmasannyalaze agabadde gasasulwa 50,000/= ku buli dduuka; yagakyusizza kati balina kusasulira ttaala era ettaala en­nene bagisasulira 40,000/=

lEnkola y’obutateesa ku bisale n’ensasula yaabyo nakyo abasuubuzi bakiwakanya.

Mutebi y’omu ku basuubuzi abaludde nga bakolera mu kibuga. Mu­suubuzi wa ngoye empya ku Arrow Center ku Ben Kiwanuka mu Kampala era ye nnannyini kizimbe ekyo.

Ye nnannyini Lutunga House ku Ben Kiwanuka. Bamuzaala Masaka gye yava okuyingira Kampala okusuubula, nga kati atandise kugula bagagga banne.

Haruna Kagodo looya wa Mutebi yagambye nti, mu kugula ekizimbe kya Premier Centre, ababadde bakiddukanya baabalaze emiwendo nga gipaazid­dwa okubamatiza nti ekizimbe kivaamu ssente nnyingi era nabo mu kwongeza baasinzidde ku miwendo egyo ne bongerako obusente butonotono; wabula ate abasuubuzi ne balaajana nti babongezza nnyo era bagenda kuteeseg­anya balabe embeera eno bw’enaakwatibwa buli kimu kitereere.

 uwonge ekizimbe kya oost ouse nakyo yakiguza utebi Muwonge ekizimbe kya Boost House nakyo yakiguza Mutebi.

 

 Abakugu balaze ekirina okukolebwa

DR. FRED Muhumuza asomesa ebyenfuna mu yunivasite e Makerere yagambye nti, bizinensi naddala ey’ebizimbe egenda eggwaamu ssente n’agamba nti, Muwonge ateekwa okuba ng’alina ekintu kye yabaze oku­tunda.

“Oyo omusajja abantu bayinza okulowooza nti agudde oba aweddemu naye ng’alina kye ya­baze okutunda ezimu ku akeedi ze; ssente aziteeke awalala ng’amaze okulaba ebyenfuna byeyongera kudobonkana.” Muhumu­za bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, abantu bbanka be ziwambira ebintu byabwe oba bantu bannaabwe okubibat­walako abasinga balwawo okulabuka okubitunda ne basasula ebbanja ne basigazaawo ssente ezee­gasa ne bazikozesa ebintu ebirala ebibazza engulu.

Yagasseeko nti, ekisinze okusuula abantu, kwe­wola ssente ng’amagoba bagenda kuzzaayo mangi era amagoba ge bafuna mu bizinensi ezo bwe gakendeera ne balemwa okusasula bbanka; ebintu bituuka kutundibwa nga tebatetenkanyizza kuva mu mbeera eyo nga teba­lese ku ttaka.

Polof. Augustus Nuwagaba eyeebuuzib­wako ku byenfuna naye agamba nti, okwewolera ku Magoba ga bbanka agali waggulu kye kimu ku bikalubizza embeera y’ebyenfuna. Amagoba gonna abantu ge bakola, mu kifo ky’okusaasaana mu bantu, ate gazzibwa mu bbanka, olwo ssente mu bantu ne zisigala nga ntono.

Yagasseeko nti ky’ekiseera Gavu­menti ezzeewo ebibiina by’obwegassi ebyaliwo nga biwa abantu ssente ne basobola oku­kola bizinensi; kubanga ssente z’ebibiina zisigala zitambulira mu bantu ate nga ne mu kuzzaayo z’ebeera weewoze; amagoba g’ozzaayo mu kibiina gaba matono nnyo.

Yagambye nti yal­abyewo akabonero akalaga essuubi, Bbanka enkulu (Bank of Uganda) bwe yasaze amagoba kw’eweera bbanka z’ebyobusuubuzi ssente era n’awa amagezi nti bwe ganakkira ddala ne gatuuka ku bitundu 9 kijja kuyamba mu kuk­endeeza amagoba bbanka z’ebyobusuubuzi ze gas­olooza ku beewola.

Embeera y’ebyenfuna yatandika okukaluba ku nkomerero ya 2015 era bizinensi nnyingi ne zitandika okuggalawo. Mu zaggalawo mwalimu n’ezirina emirandira ebweru wa Uganda nga Uchumi. Kkampuni endala nga WBS, emisolo gyakaluba ne baggalawo era embeera ezze ekaawa okukkakkana ng’amakampuni amalala amanene nga Nakumatt nago gaggaddewo.

 uperior omplex kyagulibwa audi utebi Superior Complex kyagulibwa Daudi Mutebi.

 

Mu July wa 2016, abantu ssekinnoomu n’amakampuni 65 agali mu katuubagiro k’amabanja ga bbanka gaasaba Gavumenti egay­ambe egadduukirire gaso­bole okusasula amabanja gano wabula kabineti n’esooka egaana okugawa ssente nga baminisita bagamba nti, okuwa amakampuni ssente ng’ebyenfuna tebigonjod­dwa kibeera kukola ssen­gavuddemu ngazzeemu.Agamu ku makampuni agaasaba okudduukirirwa kuliko:

1 Steel Rolling Mills Ltd Jinja ebanjibwa 75,900,000,000/-

2 Steel & Tube Kam­pala ebanjibwa 66,000,000,000/-

3 Steel & Tube Kampala, 33,000,000,000/-

4 Shumuk Aluminum Industries bagibnja 8,250,000,000/-

5 Shumuk Aluminum Industries bagibanja 6,600,000,000/-

6 Shumuk Aluminum Industries ebanjibwa 17,160,000,000/-

7 Roofings Steel Mills erina ebbanja lya 201,000,000,000/-

8 Roofings Steel Mills eban­jibwa 8,000,000,000/-

 

9 BM Steels Kampala - Hoima 66,000,000,000/-

10 Krone Uganda Ltd Kabale 2,500,000,000/-

11 BM Steels Mbarara 902,000,000/-

12 Colline Hotel Mukono 2,800,000,000/-

13 Colline Hotel Mukono ebanjibwa 4,700,000,000/-

14 Colline Hotel Mukono erina ebbanja eddala lya 1,500,000,000/-

15 Era Colline Hotel Mu­kono erina ebbanja lya 4,900,000,000/-

16 Garden Hotel Wakiso 2,400,000,000/-

17 Serene Suites Kampala 3,089,717,400/-

18 Era Serene Suites Kampala 528,000,000/-

19 Sojovalo Hotel Kampala ebanjibwa 8,300,000,000/-

20 Comfort Zone Kampala 2,920,000,000/-

21 Kabonero Grain Millers Co. Ltd 39,600,000,000/-

22 Ban Café Kampala 640,000,000/-

23 Namunkekera Agro Processing Industries Ltd Nakaseke 4,800,000,000/-

24 Job Coffee Kampala 21,300,000,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...