TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Bakkabulindi ne FUFA beetondere Bannayuganda

Minisita Bakkabulindi ne FUFA beetondere Bannayuganda

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2017

Minisita Bakkabulindi ne FUFA beetondere Bannayuganda

Seb1 703x422

NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

OKUSINZIIRA ku bye tuzze tubagamba nga tubalabula nti ebintu ebimu bisaanamu obukugu n’abakugu ababitegeera, Uganda okugenda mu maaso. Okusookera ddala, Minisita Bakkabulindi yalonda akakiiko akaddukanya Namboole era bwe kaba kalina ensonga ekalemeredde kaddukira wuwe kuba ye yakalonda.

Emirimu gy’ekisaawe ky’e Namboole emikulu gye gino; l Okuzannyiramu omupiira l Okutuuzaamu enkiiko (mu bizimbe byamwo) n’okukoleramu obubaga. l Okuddukiramu emisinde n’emizannyo emirala.

Ogw’Abalokole okusabiramu si gwa kisaawe kyokka gukolerwamu. Naye ng’abantu abamanyi ebyekikugu, bandibadde babikka ettundubali ku muddo olwo ne bakola ebyabwe. Cranes bwe yali egenda okusamba Misiri, yaleeta abakugu abaatereeza ekisaawe nga basabye Gavumenti ya wano era baamala emyezi 2 nga bali ku mulimu guno nga basasulwa Gavumenti ya Misiri ttiimu yaabwe esobole okusambira awalungi. Kino kitegeeza ki?

Nti Misiri yeetegeka nti erina okugenda mu World Cup. Kati Uganda erowooza okugenda mu World Cup tesobola na kuloongoosa kisaawe kyayo wadde okukigaana abantu okukikoleramu omulimu gwonna. Kiraga nti minisita tamanyi mirimu gye. Yandibadde asazaamu eky’Abalokole okusabira mu kisaawe ku Lwokuna (nga Cranes ezannya Lwamukaaga) ne badda ku Ssande ng’omupiira guwedde.

Omukwasi wa Denis Onyango, agamba nti ku ggoolo, Ghana gye yeemulugunyaako nti yanywa, omupiira gwakuba ku bigimusa ebyassibwa mu kisaawe ne gumukuba mu kifuba ne gudda mu kisaawe gye gwasanga omuzannyi wa Ghana eyaguzzaamu. Ebyo bye bimu ku biraga nti Uganda tennatuuka kuzannya World Cup. Uganda yasamba emipiira 2 egy’okwegezaamu nga yeetegekera Ghana ng’ogusooka gwali Lira ogutaalina wadde ekigendererwa.

Tuleme kukwata bintu bukusu kuba ekyo Micho yakikola ng’anoonya obuwagizi mu bantu naye mu nkola entuufu, tekiyamba Cranes. E Lira, teriiyo wadde ttiimu ya Super, wadde omuzannyi amanyiddwa.

Kye bandikoze, bandisambye ttiimu nga Villa, KCCA e Namboole sso si ku kisaawe ky’ekiwempe e Lugogo gye baazannyira Madagascar. Ekirala Uganda yali yeetaaga kugoba mupiira kuba kye kyokka ekyali kigireka mu kibalo.

Kitegeeza nti twali tetwetaaga Guma ne Mawejje ne bassibwa mu kuzibira ne tubulwa abazannyi abalumba mu bungi okuteerawo Okwi ne Miya emipiira okuteeba. Luwagga Kizito yekka ye yafubanga.

Muzamir Mutyaba yandibadde ayita mu wingi eya ddyo 7 bombi ne batwala omupiira maaso. Cranes yonna teyalina mutima gufiirawo ng’abazannyi abazito era tebeeyagala mu kisaawe. Tamale Mirundi yasinzidde ku leediyo emu n’agamba nti nsaana kukubwa mayinja olw’okugamba nti Cranes tesobola kugenda mu World Cup.

Tamale mmusaasira kuba yandyemalidde nnyo mu byobufuzi n’aleka omupiira gw’atalinaamu bumanyi. Okugamba nti Cranes

EEbbyyeemiizzaannnnyyoo Ssande October 15, 2017 Bukedde 29 Saddam Juma NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere Minisita Bakkabulindi ne FUFA beetondere Bannayuganda tejja kuyitamu, nakyogeza bukugu kuba nakirabirawo. Okuva mu 1998, mbadde ne Tamale ng’omupiira tagumanyi wabula nga yeemalira mu bya kuwandiika mawulire. Kitegeeza nti eby’omupiira taddamu okubyogerako asigale mu byabufuzi na byamawulire by’ategeera obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi