TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gye baagobye aba NRM abawakanya eky’emyaka

Engeri gye baagobye aba NRM abawakanya eky’emyaka

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2017

Engeri gye baagobye aba NRM abawakanya eky’emyaka

Nap2 703x422

Nankabirwa

KU ssaawa 6:40 ez’omu ttuntu ku Lwokutaano Pulezidenti Museveni yatuuse mu kisenge omwabadde ababaka b’akabondo ka NRM. Amangu ago, Ruth Nankabirwa, nampala wa Gavumenti eyakubirizza olukiiko yennyamidde olw’ababaka abatawagira kukyusa Konsitityusoni ate nga y’ensonga gye baabadde bagenda okuteesaako n’asaba ebirowoozo oba basaanidde okusigalawo.

Paul Akamba (Busiki/ Namutumba) ne Nelson Lufafa (Butembe/Jinja) baasabye nti ababaka aboogerwako baweebwe omukisa okwennyonnyolako nga tebannaba kufulumizibwa.

James Waluswaka (Bunyole West/ Butaleja) yasesezza babaka banne bwe yateesezza nti ababaka abawakanya ennongoosereza basooke bafune akasenge beggaliremu ne Pulezidenti bokka. Kyokka kino ababaka baakiwakanyizza ne bakigoba. Nankabirwa yawadde Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) omukisa okwennyonnyolako ekibagaana okuwagira ensonga eyasalibwawo akabondo konna.

Ssekikubo yayimiridde n’ategeeza Pulezidenti nga bwe baamuwandiikira edda ebbaluwa nga bamulaga ebintu bye beemulugunyizza, kyokka n’atabaddamu. Yeemulugunyizza okuba ng’ensonga eno yabadde teyise mu bubondo bwa NRM obumanyiddwa nti era kyabadde kya bulabe Gavumenti okusalawo okuwagira ebbago ly’omuntu ssekinnoomu ate nga basobola okuleeta ennongoosereza zonna omulundi gumu.

Pulezidenti yategeezezza nti ensonga za ba Ssekikubo ajja kuzituulamu era abaanukule, kyokka nga kirina kukolebwa ku lunaku lulala. Museveni yawagidde eky’ababaka abatawagira okufuluma, era olwamaze ababaka okwabadde; Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya), John Baptist Nambeshe (Manjiya/ Bududa) ne Patrick Nsamba (Kassanda North) ne bafuluma.

Barnabas Tinkasiimire ( Buyaga West) yasoose kusigalamu ng’awanise omukono okutuusa lwe baamukkirizza okwogera. Yeemulugunyizza eri Pulezidenti nti baali basazeewo okwekubira enduulu gyali nga bamuwandiikira ebbaluwa, kyokka mu kifo ky’okubaddamu afulumizza bafulumye. Ababaka abalala baategeezezza nti mulimu ababaka abawakanya abaabadde bakyalimu, era Nankabirwa kwe kusoma erinnya lya Sylivia Rwabwogo (Mukazi/ Kabarole) eyakutte ensawo ye n’afuluma. ABABAKA

ABAAFULUMIZIDDWA BAKYAWERA

Ababaka bonna abaafulumye oluvannyuma baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Palamenti ne bategeeza nti eky’okubafulumya tekigenda kubaggya ku mulamwa gwa kuwakanya bantu baagala kukyusa Konsitityusoni. Baaweze nti baakutalaaga ebitundu by’eggwanga byonna nga bawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka. Nankabirwa yategeezezza nti ababaka abaagobeddwa bakyali ba NRM, kyokka nga baabadde tebasaanidde kubeera mu lukiiko lutema mpenda ku nsonga gye bawakanya.

PULEZIDENTI MUSEVENI AWAGIRA

Nankabirwa, yagambye nti pulezidenti yabakakasizza nga bw’awagira okukyusa Konsitityusoni nga baggyawo akawaayiro akakugira omuntu asussa emyaka 75 okwesimba ku bwapulezidenti. Guno gwe mulundi ogusoose pulezidenti okuvaayo mu bulambalamba n’ategeeza nga bw’awagira ebbago lya Raphael Magyezi (Igara West) eriruubirira okuggya ekkomo ku myaka.

ABAVUGANYA BAAKUBYE ENKUNG’AANA MU KAMPALA Abakulembeze b’oludda oluvuganya Gavumenti baayogedde ne beemala eggoga bwe baakubye enkuhhaana bbiri e Nakawa ne Kireka nga poliisi tebataataaganyizza. Winie Kiiza, akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti ne pulezidenti wa FDC Gen.

Mugisha Muntu, omubaka Micheal Kabaziguruka (Nakawa), Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Municipality), Moses Kasibante (Lubaga North), Allan Ssewanyana (Makindye West), Ibrahim Kasozi (Makindye East), Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Muwanga Kivumbi (Butambala), Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ne meeya we Nakawa Ronald Balimwezo be bamu ku baayogeredde mu nkuhhaana zino.

Kiiza yeewaanye n’ategeeza nti; “mwenna mwatulabye mu palamenti nga tulwana era twawangudde era n’ekiseera kino ebyabaddewo bikyabatuuza bufoofofo. Kikafuuwe okukyusa Konsitityusoni nga baggya ekkomo ku myaka.” Muntu yagambye nti obubonero obuliwo bulaga nti Pulezidenti Museveni akooye era tebagenda kuddiriza mu ntegeka zaabwe ezimuwaliriza okuwummula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...