TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno Tekinologiya America gweyakozesezza okutemula eyatemula abantu e Kenya

Wuuno Tekinologiya America gweyakozesezza okutemula eyatemula abantu e Kenya

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2017

Wuuno Tekinologiya America gweyakozesezza okutemula eyatemula abantu e Kenya

Yeb1 703x422

White Widow ng’amannya ge amatuufu ye Sally Jones eyattiddwa.

TEKINOLOGIYA w’ebyokulwanyisa yeeyongedde. N’okutuusa leero, abantu bakyewuunya bakkomando ba Amerika gye baasinzidde mayiro 7,000 ey’omu ddungu lya Amerika ne batemula omukazi mpalakitale eyaduumira olukwe olwatta abantu mu Kenya.

Nga September 21, 2013, abatujju baalumba edduuka lya Westgate Shopping Mall mu kibuga Nairobi ne baliwamba ne batandika okutemula be baasangamu. Okuva olwo, Amerika ebadde eyigga omukazi eyakazibwako erya White Widow naye ng’amannya ge amatuufu ye Sally Jones eyaduumira ettemu lino. baakozesezza ennyonyi eziriko bbomu Bakkomando abaamutemudde baabadde bakozesa ennyonyi ezeevuga zokka eziyitibwa Drones nga ziriko bbomu.

Baasinzidde ku kitebe kyabwe ekya Creech Air Force Base mu katundu akayitibwa Indian Springs mu ssaza ly’e Nevada. Ennyonyi zino ezeevuga zokka zimaze ebbanga lya myaka ena nga zimulondoola ssaako n’okumukuba ebifaananyi mu bifo gy’abadde atambulira nga Syria era okumutta yabadde asala nsalo okuva mu ggwanga lino.

Olwamaze okwekkaanya ebifaanaanyi bye bazze bamukuba bakakensa baanyize eppeesa erinasula ebikompola mu nnyonyi ezibadde zimuketta ne zimusesebbula. White Widow, 50 yali abeera Bungereza e Chatham ku kyalo Kent. Yaddukira e Syria ku nsalo yaayo ne Iraq n’omwana we n’atandika egy’okuyamba aba ISIS ku kitebe kyabwe ku kyalo Raqqa gye baamuttidde kyokka yabadde ng’ategedde ku lukwe lw’okumutta era yabadde agezaako okudduka ekibabu ne bamukubira wakati awo. Afudde ayagala kudda Bungereza ne muganzi we Junaid Hussain n’omwana waabwe, JoJo eyali ow’emyaka omwenda mu 2013 we yaviirayo.

Yattiddwa nga Gaddafi ne Osama bin Laden Okuva mu 2001, ekifo Creech e Nevada kye kibadde kikozesebwa ku bikwekweto by’okutta bannalukalala mu kyondo kya buwalabu. N’eyali Pulezidenti wa Libya, Col. Muammar el Gaddafi, ennyonyi ya drone eyasooka okukuba ekikompola ku luseregende lwa mmotoka ze n’attibwa nga October 20, 2011 bwe yali adduka ekibabu ky’abayeekera abaali bamuzinzeeko mu kibuga Sirte, limooti ezaanasula ekikompola, baazinyigira Nevada gye baali bamukettera. Osama bin Laden eyattibwa nga

2 May, 2011 e Pakistan nga ye yakulira olukwe lw’okutomeza ennyonyi ebizimbe ezatta Abamerika abaalimu 3,000 mu 2001, naye ennyonyi za drones ze zaamuketta n’okulembera olukwe. Bakikola batya

  1. Abamerika bano balina enkambi n’ebisaawe okuli ennyonyi ennwaanyi mu mawanga ag’enjawulo saako abakessi mu mawanga ago agakolagana nayo. Ennyonyi za drones ziyambibwako bambega ab’oku ttaka abatambula okuzuula ekigenda mu maaso mu bantu. Bwe bafuna bwino, bamuweereza abali e Nevada olwo ennyonyi zino ne zisindikibwa mu kitundu ng’ekyo gye baabadde basuubira nnakyala ono okubeera ne zisimba amakanda mu bwengula bw’ekifo kye bamusuubiramu obutaviirawo ddala okumala ennaku.
  2. 2. Zirina kkamera ezikwata ebifaananyi ebitasalako nga bwe biweerezebwa obutereevu e Nevada. Ennyonyi emu bw’evaawo endala ebeera yatuuse dda okwongera esoose w’ekomye ate zibeera zitumbidde wala nnyo nga ggwe atalina byuma biziketta toyinza kukimanya.
  3. Omu ku Bakkomando Case Cunningham eyakulembedde ekikwekweto ky’okutta omukazi ono yategeezezza nti, ekifo ekyo e Nevada tekyebaka, Bakomando babeera bulindaala abamu bwe beebaka abalala basigala ku mulimu okuketta abatujju yonna gye bali mu nsi kubanga n’ennyonyi ezo zisula zibabega nga byonna babikola kukuuma Amerika.
  4. 3. Okumanya abasajja bano bakoowa, okutunuulira ebifaananyi ebiweerezebwa ennyonyi zino obutasalako ate nga balina n’okubiggyamu amakulu kumala obudde. Okugeza, olulumba olwatta Abu Musab al-Zarqawi eyatandikawo ekibiina kya al Qaeda mu Iraq, lwamala essaawa 600 z’ennaku 25 nga bakkomando beetegereza ebifaananyi obutasalako okutuusa lwe baabikakasa olwo ali ku limooti e Nevada n’anyiga eppeesa ennyonyi zennyini ezikwata ebifaananyi ne zikasuka ebikompola ne bimutta. “Ffe tuba ng’abali mu kulaba firimu kubanga obeera ku kyuma nga kumpi totemya’ bwatyo kapiteeni Tim omukugu mu by’okuvuga ennyonyi ezeevuga zokka ng’ali ku limooti bw’agamba.
  5. Agattako nti abakola omulimu ogwo nabo babeera ng’abaserikale bennyini ababeera mu ddwaaniro n’emmundu za mukono mukono nga bakuba ebyasi. Era okunoonyereza okwakolebwa ku kitebe ky’eggye lya Amerika ekya Pentagon mu Amerika mu ssaza ly’e Virginia kwazuula nti ng’abaserikale abali mu ddwaaniro bwe balwala endwadde z’emitwe eziva bunkenke bwe babaako, n’abatudde eyo nga bakozesa drones bwe balwala.
  6. Kyokka waliwo ekibinja ky’abantu abeeyita Veterans for Peace abagamba nti baaliko abajaasi mu Amerika abalwanirira eddembe ly’obuntu abeekalakaasirizza ku mulyango gw’enkambi eno e Nevada nga bagamba nti ennyonyi zino zitta banaalumanya ne bassaalumanya omuli n’abaana abato ate ntemu nnyo engeri gye ziketta abantu ababa tebabiriiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi