TOP

Bannakenya mweyiwe ku nguudo - Odinga

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2017

RAILA Odinga oluvudde e Bungereza, atuukidde Mombasa mu kibangirizi kya Mama Ngina Grounds gy’akubye olukungaana gaggadde n’akunga Bannakenya leero ku Mmande okweyiwa ku nguudo bongere akazito ku kakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya.

Redcross1 703x422

Aba Red Cross nga bayamba omu ku bayizi abaalumiziddwa mu bulumbaganyi.

NAIROBI, Kenya

RAILA Odinga oluvudde e Bungereza, atuukidde Mombasa mu kibangirizi kya Mama Ngina Grounds gy’akubye olukungaana gaggadde n’akunga Bannakenya leero ku Mmande okweyiwa ku nguudo bongere akazito ku kakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya.

E Bungereza gy’amaze ennaku ssatu, abadde mu kafubo n’Abazungu.

Wabula Pulezidenti Uhuru yamugugumbudde nti mu kifo ky’okukuba kampeyini ezinaamuwanguza Obwapulezidenti bw’ayaayanira, awumpugumira mu Bazungu abatalina kye bagenda kumuyamba.

Odinga yategeezezza abawagizi be nti okulonda kwa October 26, 2017 okutegekeddwa si kwa kubaawo kuba enkyukakyuka mu kakiiko k’ebyokulonda nga kkooti ey’oku Ntikko bwe yalagira ng’esazaamu ebyava mu kulonda kwa August 8, 2017 tezinnabaawo.

Yagambye nti okwelakalaasa lwe lulimi akakiiko kano lwe kajja okuwulira okusobola okutegeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya.

Yakakasizza abawagizi be nti ye n’abakungu ab’omukago gwa Nasa ; Kalonzo Musyoka, Musalia Mudavadi, Moses Wetang’ula, James Orengo n’abalala bagenda kwetaba mu kwekalakaasa kwa leero nga baakukuhhaanira mu kibangiriza kya Nairobi Central Park we bajja okuva okugenda ku kitebe kya IEBC ku Bomas.

UHURU TUMUZZAAYO MU ICC

Abakungu b’omukago gwa Nasa abaayogeredde mu lukungaana luno baategeezezza nti batandise okukungaanya obujulizi ku kutulugunya n’okutta abantu abeekalakaasa mu ddembe ne balabula Pulezidenti Uhuru nti bagenda kumuzzaayo mu kkooti y’ensi yonna ku kittabantu.

James Orengo yagambye nti etteeka lya ICC likirambika bulungi, nti tekyetaagisa kumala kutta bantu 100, omuntu okutwalibwa mu ICC n’agamba nti bakungaanya bujulizi ku Uhuru ne basajja be. Bino biddiridde abantu babiri abattiddwa ku Lwokutaano e Bondo, Odinga gy’azaalibwa bwe baabadde beekalakaasa. Poliisi yagambye nti battiddwa nga baluutinga.

ABAZUNGU MUTWESONYIWE - UHURU

Pulezidenti Uhuru Kenyatta alabudde amawanga g’Abazungu obuteeyingiza mu nsonga za Kenya ez’omunda kuba esobola okwekolera ku bizibu byayo.

Yagambye nti Kenya terina buzibu bwonna, ensonga eziriyo za munda era Bannakenya be bajja okuzeemalira.

OMUYIZI ASSE BANNE 7

Bannakenya nga bakyaleebuukana n’ogw’obululu, ate omuyizi enzaalwa y’e South Sudan gwe baagobye mu ssomero e Kenya olw’okusiiwuuka empisa, azze awaka n’afuna emmundu.

Azzeeyo ku ssomero n’asasira amasasi mu kisulo ky’abayizi nga beebase, n’attirawo 7 n’okulumya 22.

Essaawa zaabadde mu 10:00 ez’ekiro ekyakeezezza Olwomukaaga, enduulu n’emiranga ne bisaanikira essomero lya Lokichoggio Mixed Secondary School ng’emmundu etokota obutasalako wakati mu bayizi okubuna emiwabo nga badduka okutaasa obulamu.

Essomero lino lyesudde kiromita emu yokka okuva ku nsalo ya Kenya ne South Sudan. Abraham Lochor abadde asoma S1 yazze n’abavubuka bana nga abagalidde emmundu nga baasoose kutta muserikale wa poliisi akuuma essomero eryo.

Beeyawuddemu ebibinja bibiri, ekimu Lochor kye yaduumidde ne kirumba ekisulo ky’abalenzi ate ekirala ne kirumba ekisulo ky’abawala ne babasobyako.

Joseph Lokaale, 20 owa S.2 naye enzaalwa ya Souh Sudan yagambye nti yayise ku lugwanyu okuttibwa kuba yabuuse eddirisa n’adduka.

Yagambye nti Lochor yali muserikale mu ggye lya SPLA era baamusibako mu kkomera olw’okutta omuntu wabula ekibonerezo kye ne kikendeezebwako olw’emyaka gye ne bamukkiriza okudda mu ssomero.

Lochor okugobwa ku ssomero, yakubye omusomesa n’okuwemula abayizi n’omukulu w’essomero.

Abamu ku baatuusiddwaako ebisago baabongeddeyo e Nairobi mu Moi Teaching and Referral Hospital okubongera obujjanjabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards