TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Byandala bamulagidde yeewozeeko ku gw'okufiiriza Gavt. obuwumbi 24

Byandala bamulagidde yeewozeeko ku gw'okufiiriza Gavt. obuwumbi 24

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2017

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza gavumenti ssente ezisoba mu buwumbi 24 ezaafira mu kukola oluguudo lwa Mukono - Katosi.

Byandala2 703x422

Abraham Byandala nga yeegeyaamu ne looya we Nsubuga Mubiru oluvannyuma lwa kkooti okumulagira yeewozeeko

BYA ALICE NAMUTEBI

Omulamuzi Lawrence Gidudu agambye Byandala nti okusinziira ku bujulizi bwa bantu 23 bwawulidde, okugyako nga yewozezaako emisango gyandimukka mu vvi.

Byandala avunaanibwa okufiiriza gavumenti ssente obuwumbi 24 n’obukadde 7, okukozesa obubi ofiisi ye n’okujeemera ebiragiro bya kaliisoliiso eyali alagidde okukola oluguudo lwa Mukono - Katosi kuyimirire kyokka Byandala n'awandiika ebbaluwa ng’alagira ab’ekitongole ky’enguudo okuteeka omukono ku ndagaano ne kkampuni y’empewo [Eutaw] nga tasoose kwetegereza oba kkampuni eno yalina obusobozi obukola oluguudo.

Mu sitetimenti ye, Byandala agamba nti okulagira UNRA okuteeka omukono ku ndagaano yakikolera mu buyinza obwamuweebwa nga minisita.

Omulamuzi Gidudu agambye Byandala nti ayagala amunnyonnyole oba nga okulagira UNRA okuteeka omukono ku ndagaano ne kkampuni ey’empewo nga tasoose kuginoonyerezaako kigwa mu buyinza obwali buweebwa nga minisita.

Byandala bw'aweereddwa omukisa annyonnyole engeri gy'agenda okwewozaako agambye nti agenda kusooka kulayira era mu ngeri eno oludda oluwaabi lujja kukkirizibwa okumusoya ebibuuzo mw'ebyo by'anaayogera.

Abalala abalagiddwa okwewozaako kuliko; Berunado Ssebbuga, eyali akulira ekitongole kya UNRA, Joe Ssemugooma ne Marvin Baryahura eyali akulira ebyamateeka mu UNRA ng’ono avunaanibwa obutawa kkampuni bakugu batuufu nga byonna byaviirako okufiiriza gavumenti obuwumbi 24.

Abalala kuliko;  Isaac Mugote, eyali omukozi mu Housing Finance Bank era nga ssente ezaasasulwa kkampuni ey’empewo zaateekebwa ku akawunti ya banka eno wamu Apollo Ssenkeeto eyafuna ssente obuwumbi 24 kulwa kkampuni ey’empewo eya Eutaw.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wa 220x290

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa...

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa kwa bba

Panda1 220x290

Ochola atandise okubala Abapoliisi...

Ekitongole kya Poliisi ekikwatisa empisa ekya ‘Police Professional Standards Unit’ kitandise okubala n’okuwandiisa...

Dpcwembararajafarimagyezieyakwatiddwaabacmi 220x290

Amagye gakutte DPC w'e Mbarara...

Aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mbarara, ASP Jafari Magezi akwatiddwa ab’ekitongole ky’Amagye ekya CMI nga...

Kola 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUBIRI ALIMU BINO...

Mulimu omuserikale eyeesowoddeyo okulumiriza Kayihura ku bya Kaweesi. Muninkini wa Kaweesi gwe baakwata bamutaddeko...

Atuwadde 220x290

Eya basketball erwanira z'Afrika...

ABAZANNYI ba ttiimu y'eggwagga ey'abali wansi w’emyaka 18 mu muzannyo gwa basketball, bataka mu kibuga Dar- Es-...