TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amyuka ssentebe w'e Lwengo naye akubye abantu kibooko

Amyuka ssentebe w'e Lwengo naye akubye abantu kibooko

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2017

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Pub1 703x422

Bya Florence Tumupende

AMYUKA ssentebe wa Disitulikiti y’e Lwengo Joram Tugume avudde mumbeera n'akuba abatuuze kibooko bwe baziimudde ekiragiro ky’okukuula ebikondo ebyasimbiddwa omugagga Isreal.

Tugume okukwata omuggo kidiridde abatuuze b’e Kalangala mu ggombolola y’e Malongo okwekubira omulanga mu wofiisi ya ssentebe George Mutabaazi nga bwe waliwo omugagga gwe bamanyiiko erya Isreal okwekobaana ne ssentebe w’eggombolola Simeo Ssenkyama ne babba ettaka ly’ekisaawe eriweza yiika bbiri ssaako okuggala oluguudo n’oluzzi ebiri ku ttaka lino.

Tugume agenze ku kyalo kino okuwuliriza ensonga z’abatuuze n'asanga ng’embeera mbi kuba oluguudo omugagga Isreal lwe yagadde lwe lubadde luyisa abasuubuzi okugenda mu butale obw’enjawulo kwossa n’okugenda mu ggwanga erya Tanzania .

Bamuloopedde nga ensolo zaabwe eziri mu 100 bwe zitondose ennyonta olw’ebbula ly’amazzi ng’oluzzi olubadde lukwatiridde ebyalo bitaano omugagga yalusibiddeyo ssaako okuwera okubatusaako obulabe singa bakwatibwa nga betantalira mu ttaka lino.

Wakati mu lukiiko olubadde lukubiddwa ku kisaawe kino  Tugume alagidde abatuuze okusitukiramu bamenyewo ebikondo ne ssengenge ebyasibiddwa ku ttaka lino ekivuddeko abatuuze okuwalira n'abaweewenyula kibooko.

Bakira baggyawo ebikondo ng’amaziga gabayitamu n'abakuutira obutaddamu kuddukira mu wofiisi ye nga baagala obuyambi ate nga bebaviiriddeko abagagga okubalinya ku mitwe.

Sentebe w’ekyalo  lillian Kasigazi ategeezezza ng’omugagga bw'aludde ngabakudalira nti tebaggya kumusobola kuba abanene okuli ne ssentebe w’eggombolo enoSimeo Senkyama bweyamuwadde emitwalo asatu ( 30,0000/-) ng’era kigenda kubeera kizibu okumuwangula.

Tugume alabudde abakulembeze okukomya okwekobaana n’abagagga ne babba ettaka ly’abantu ky'agambye nti kikyamu era n'alagira sentebe Ssenkyama akwatibwe bunnambiro awamu n’omugagga kuba ettaka lye banyagulula ku batuuze lya Gavumenti ate nga liri muntobazi ekitakirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera...

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera ku birungi bya NRM

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda