TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ying. alumirizza abajaasi okumusaba enguzi ya buwumbi 7

Ying. alumirizza abajaasi okumusaba enguzi ya buwumbi 7

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2017

YINGINIYA mu minisitule y'ebyokwerinda alumirizza abakulira ettendekero ly'amagye okumusaba enguzi asobole okuweebwa kontulakiti eddaabiriza ettendekero lino.

Manya 703x422

Maj. Wanyama ne Lt. Ruhinda (ku ddyo).

BYA MARGARET ZALWANGO

Eria Mubiru 31, nnannyini kkampuni eya J2E Investments abadde mu kkooti y'amagye e Makindye n'alumiriza bannamagye babiri okumusaba ssente obuwumbi musanvu afune kontulakiti y'okuddaabiriza ettendekero ly'amagye e Kaweweta ekisangibwa e Mubende.

Mubiru ategeezezza kkooti nti, aludde ng'akola ne minisitule y'ebyokwerinda era mu 2010 kkampuni ye yafuna kontulakiti okuddaabiriza ettendekero ly'amagye e Kaweweta okwali okuzimba ebibiina, ebisulo n’okuzimba ekisenge awaliirwa emmere kyokka oluvannyuma yayimirizibwa okukola basobole okubalirira emirimu egyali gikoleddwa.

Maj. Mark Wanyama eyali akulira ebyensimbi mu kitongole kya bayinginiya ba UPDF ne Lt. Arthur Ruhinda nga ye mukwanaganya w’ekitongole kigambibwa nti, baatuukirira Mubiru nga baagala abawe obuwumbi musanvu kkampuni ye egende mu maaso n'okukola era ne bamugamba nti singa kimulema okukola kkampuni ye egenda kusazibwamu.

Ayongeddeko nti yagenda n'abaloopa ew'omugenzi Gen. Aronda Nyakairima n'amulabula obutabawa ssente wabula afune obukakafu basobole okuvunaanibwa.
Mubiru ye mujulizi asoose mu musango guno.

Yayongeddeko nti, yafuna akuuma akakwata amaloboozi n'okweyambisa abakulira ebifo gye baasisinkaniranga n'akwata obutambi n'amaloboozi era nga n'abakulira ettendekero ly'e Kaweweta baamuyambako.

Nga December 31, 2011, Mubiru yawandiikira Gen. Aronda Nyakairima mu butongole okumunnyonnyola ekigenda mu maaso n'amukwasa Cpt. Albert Mukama okuva mu kitongole ekikessi mu magye ekya CMI okufuna obujulizi obumala.

Mu December wa 2012, Maj. Wanyama yabanja Mubiru ssente kyokka Mubiru n'amutegeeza nti, tazirina mpozzi amuweemu mmotoka ezibalirirwamu obukadde 500.

Yakkiriza ne bassa emikono ku ndagaano era ne bamulabula okukuuma kono nga kyama kyabwe.

Bakkaanya nti, alina okwongerayo obuwumbi obulala buna nga yalina kubuteeka ku akawunti ya Maj. Wanyama mu bbanka Standard Chartered ku ttabi lya Forest Mall e Lugogo.

Mubiru ategeezezza nti, bwe yagaana okussa ssente ku akawunti, abawawaabirwa ne bakamutema nti, Lt. Gen Charles Angena yali asazizzaamu kontulakiti ye.

Abawawaabirwa nga bakiikirirwa munnamateeka Paul Kuteesa baasabye Mubiru aleete endagaano gy'ayogerako omusango gulyoke gugende mu maaso.

Omuwabuzi wa kkooti eno Lt. Col. Gideon Kattinda asabye ssentebe wa kkooti, Lt. Gen. Andrew Gutti omusango agwongereyo era kkooti n'ewa olwa November 21, 2017 guddemu okuwulirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Madiinahislamicsskaterekensangi 220x290

Abaakoze obulungi mu bya S.6 bakyajaganya...

Abayizi ba Mirembe Islamic SS Gangu nga bajaganya olw'obuwanguzi bwebatuuseeko mu bibuuzo bya Ssiniya ey'omukaaga....

Conduct 220x290

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti...

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto,...

Buzo1 220x290

Omuwendo gw'abawala abatudde S.6...

Janet Museveni minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo yennyamidde olw’omuwendo gw’abayizi abawala abaatudde S6 ogukendedde....

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...