TOP

Muhoozi yeegaanyi abamusaba okwesimbawo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2017

MAJ. GEN. Muhoozi Kainerugaba ategeezezza nti, talina kakwate n'abavubuka abaavuddeyo ne bategeeza nga bwe baagala yeesimbewo ku bwapulezidenti mu 2021.

Muhoozi1 703x422

Muhoozi mutabani wa Museveni

Bya KIZITO MUSOKE

MAJ. GEN. Muhoozi Kainerugaba ategeezezza nti, talina kakwate n'abavubuka abaavuddeyo ne bategeeza nga bwe baagala yeesimbewo ku bwapulezidenti mu 2021.

Abavubuka bano abeeyita “MK Generation” gye buvuddeko baafulumya obupapula nga bawandiiseeko obubaka obusaba Muhoozi yeesimbewo ku bwapulezidenti. Kyokka omwogezi wa Muhoozi, Maj. Chris Magezi ategeezezza bye boogera talina kyabimanyiiko.

Yagambye nti ekibinja ky'abavubuka bano kyasooka kuvaayo ng’okulonda kwa 2016 kunaatera okutuuka.

Kyokka okulonda okuva lwe kwaggwa babadde tebaddangamu kulabika okutuusa kati. Kyokka yagambye nti abavubuka ba ddembe okuba n’endowooza yaabwe era Muhoozi abasiima okuba nga bamulinamu obwesige. Muhoozi mutabani wa Mw. Museveni era ye muwabuzi wa Pulezidenti ow'enjawulo ku bikwekweto.

ABABAKA BALEMEDDE MU KAMPALA Bukya Sipiika Rebecca Kadaga asindika Palamenti mu luwummula, ababaka bangi tebannagenda mu bantu bali mu Kampala balinze ssente.

Palamenti yagenda mu luwummula nga October 4, ababaka bagende bebuuze ku bantu ku kuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ababaka baagambye nti beetaaga ssente zino okupangisa emizindaalo, obutebe n’ebirala okusinziira ku IVAN MPONYE.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...