TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamukutte n’enjaga ng’agikwese mu kiwale munda

Bamukutte n’enjaga ng’agikwese mu kiwale munda

By Eria Luyimbazi

Added 18th October 2017

POLIISI ekutte omukazi abadde akukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 800 ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’ayogera b’abadde agitwalira.

Nankanja1 703x422

Nankanja ng’akutte ekiwale mwe yabadde akwese enjaga.

Bya Eria Luyimbazi ne Godfrey Ssempijja

POLIISI ekutte omukazi abadde akukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 800 ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’ayogera b’abadde agitwalira.

Allen Nankanja 51, ow’e Makerere Kikoni ye yakwatiddwa ng’enjaga ekukukuliddwa mu kiwale ekinene kye yabadde ayambadde munda.

Omwogezi wa poliisi avunaanyizibwa ku kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango,Vincent Ssekate yagambye nti Nankanja yakwatiddwa abaserikale nga October 13, 2017 oluvannyuma lw’abaserikale okumwekengera era bwe baamwazizza ne bamusanga n’enjaga.

Yagambye nti Nankanja enjaga gye yasangiddwa nayo ezitowa kkiro ssatu n’ekitundu ng’ebalirirwamu obukadde 875.

Yagijjye mu Brazil nga yaggyidde mu nnyonyi ya Ethiopia Air Lines nga yayitidde Ethiopia n’atuuka e Ntebe.

Ssekate yagambye nti guno mulundi gwakubiri nga Nankanja akwatibwa ng’ogwasooka baamukwatira Malaba ku nsalo ya Uganda ne Kenya ne bamutwala mu kkooti.

Yawaayo engassi ya bukadde bubiri ne bamuyimbula.

Yagambye nti abaserikale beekengedde Nankanja ne bamuzza mu kasenge mwe baamwalizza ne bagisanga mu kiwale.

Yabadde ayambadde ekiteeteeyi kiwanvu nga kizibu okumanya nti alina by’atadde munda. Nankanja akuumirwa ku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe nga yagguddwaako omusango gw’okukukusa enjaga ku fayiro nnamba SD: 21/13/10/2017.

Nankanja yagambye nti waliwo omukazi ayitibwa Teddy gwe yasanze e Brazil nga ye yamutisse enjaga ng’amusuubizza okumuwa obukadde 21 singa agituusa eri bakasitoma Abanigeria ababeera mu Uganda.

Yagambye nti poliisi bwe yamukwatidde ku kisaawe, abantu be yabadde agenda okuwa enjaga bamuwe ssente baabaddewo era bwe baalabye nga bamunywezezza ne badduka.

Yagambye nti embeera y’emuwaliriza okutambuza enjaga nga sikyangu kufuna akuwa bukadde bwa ssente n’obugaana ng’ate osobola okugitambuza nga bwe yabadde akoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA