TOP
  • Home
  • Agawano
  • Poliisi eweze ebivvulu bya Bobi Wine lwa kubigattikamu byabufuzi

Poliisi eweze ebivvulu bya Bobi Wine lwa kubigattikamu byabufuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2017

POLIISI eyimirizza ebivvulu by’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine okutuusa ng’emalirizza okubuuliriza ku nneeyisa ye.

22519437101567365177730125513782420228839874n 703x422

Bobi Wine ng'ayimbira abawagizi be e Busaabala

Ekimu ku bivvulu bino kibadde kigenda kubeera ku Colline Hotel e Mukono. Poliisi egamba nt omuyimbi Bobi Wine  nga kati munnabyafuzi awakanya ennyo obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni mu nkola eya ‘Togikwatako’ kigambibwa nti yasinzidde mu kivvulu kye yakubye e Busabala n’ayogera ebigambo ebikuma omuliro mu bantu.

Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Frank Mwesigwa bino yabitegeezezza aba ‘’Balunywa Promotions’’ abaabadde bategese ekivvulu e Mukono nga kigenda kuyimbirwamu Bobi Wine n’agamba nti ‘’poliisi tejja kusobola kubawa bukuumi kuba agenda okukiyimbiramu (Bobi Wine) yayogedde ebigambo ebikuma omuliro mu bantu ng’ali ku One Love Beach e Busabala mu kivvulu kye ekya 'Specioza Concert'.

Wabula Bobi Wine ategeezezza nti eby’okumugaana ekivvulu ajja kubiwakanya kuba bigendereddwa kulinnyirira eddembe lye ery'obwebange n'okweyogerera.

‘Baganyi ebivvulu byange era sisobola kukola kivvulu kyonna mu Uganda nti olw’okuba nnina bye nnayogeredde e Busabala !’’ bwe yeewunyizza.

Ebivvulu bya Bobi Wine e Kamuli n’e Kasese nabyo byayimiriziddwa.

Ku Lwokutaano waliwo ekivvulu kye yabadde agenda okukola e Bukoto mu Kampala nakyo poliisi n’ekiyimiriza n’ebizindaalo n’egenda nabyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono