TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Aba NRM ababeera ebweru badduukiridde eyalumiddwa embwa

Aba NRM ababeera ebweru badduukiridde eyalumiddwa embwa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2017

ABAWAGIZI ba NRM ababeera ebweru wa Uganda abakulemberwa Mw. Patrick Asiimwe badduukiridde abaana ababiri abalumiddwa embwa e Masaka n’ensimbi akakadde kamu zibayambe mu kujanjabibwa.

Kwata 703x422

Rose Birungi owokubiri ku (kkono) ne Godius Twesigye ku (wakati) aba NRM okuva ebweru nga bawaayo ssente akakadde akalamba okudduukirira abaana abaalumwa embwa e Masaka.

Obuyambi buno, bwetikkiddwa abakungu babiri ab’ettabi ly’ekibiina kino okuva ebweru okwabadde Muky. Rose Birungi ne Mw. Godius Twesigye nga baazikwasizza bazadde b’abaana bano mu ddwaaliro e Masaka gye bakyajjanjabirwa.

Kino kiddiridde amawulire agaafulumidde mu Bukedde wiiki ewedde agaalaze engeri embwa zino gye zaalumye abaana babiri e Mpugwe mu ggombolola y’e Mukungwe - Masaka  nga bakuba omulanga eri abazirakisa okubadduukirira olw’okubulwa ssente z’obujjanjabi.               

Omwogezi w’ekiseera ow’ekibiina kino ebweru wa Uganda, Moses Kimuli mu bubaka bwe asaasidde abaana abaalumiddwa embwa n’agamba nti obuyambi babuwaddeyo olw’okulumirwa abaana bano n’okulaba nga bajjanjabibwa basobole okutereera.

 ose irungi ku ddyo ne  odius wesigye ku kkono aba  okuva ebweru nga bawaayo ssente akakadde akalamba okudduukirira abaana abaalumwa embwa e asaka Rose Birungi ku (ddyo) ne Godius Twesigye ku (kkono) aba NRM okuva ebweru nga bawaayo ssente akakadde akalamba okudduukirira abaana abaalumwa embwa e Masaka.

Yagambye nti okuva lwe baafuna okwegatta wansi w’obukulembeze bwa Mw. Asiimwe, basobodde okuwagira ebintu bingi mu Uganda era baakugenda mu maaso n’omutima gw'obumu.

Mw. Kimuli era  yazzeemu okujjukiza bannakibiina ababeera ebweru wa Uganda ng’enteekateeka z’okulonda obukulembeze obuggya bwe zengedde nga zaakubaawo mu February 2018 n’asaba abatanneewandiisa okukikola ng’obudde tebunnabayitako.

Yagasseeko nti mukama we Mw. Asiimwe akyagenda mu maaso n’okulambula amawanga ag’enjawulo ng’agenda akunga Bannayuganda abaliyo okwegatta ku NRM era ng’azzaako Misiri (Egypt) oluvannyuma lw’okuva e Turkey.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...