TOP

By’olina okukola obutalwala kibumba

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2017

By’olina okukola obutalwala kibumba

Im2 703x422

Omusawo ng’apima omu ku bantu abajja okwekebeza obulwadde bw’ekibumba mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekebwa Vision Group mu Kampala.

ALICE Ssuuna (Si mannya ge amatuufu) alina akawuka ka Hepatitis wabula tali ku ddagala era asobola okusiiga omuntu omulala. Alaga bwe yazuula nti alina akawuka kano ne bw’asobodde okubeerawo nga tasiize balala wadde omwana gwe yazaala oluvannyuma lw’okumuzuula ng’akalina.

Yanyumizza bwati: “Nazuula nti, nnina obulwadde buno nga ndi lubuto lwa myezi esatu mu January w’omwaka guno era kyankuba wala. Nali ηηenze kunywa ddagala mu ddwaaliro lya Mukono Health Centre (Namirembe). Era omusawo yantegeeza nti okusinziira ku bye baali bazudde nali mmaze nabwo ebbanga erisoba mu myaka etaano kyokka nga nali omu ku abo abatambula nabwo nga tebubakosa wabula nga basobola okusiiga abalala.

Ekyasinga okunneeraliikiriza kwe kuba nti omwana wange naye nali nsobola okumusiiga obulwadde buno. Wabula omusawo bwe yannyinyonnyola oluvannyuma naguma kuba nakimanya nga nalina omukisa okumuzaala nga tabufunye ate ne mmuyonsa.

Naweebwa amakerenda okukkakkanya entunnunsi engeri gye nali olubuto era ne bantegeeza okusigala nga ndya bulungi. Nakubirizibwa obuteeraliikira nnyo kuba kikosa omwana ali mu lubuto.

Omwami wange yakitegeera era n’ampagira mu byonna bye nali mpitamu okutuusa lwe nazaala. Ekyanneewuunyisa ye baze yeekebeza nga talina kawuka kano. Kino omusawo yakinnyonnyola ng’agamba nti, ayinza okuba nga y’omu ku abo abakwatibwa wabula omubiri ne gulwanyisa akawuka ka Hepatitis ne batalwala nga ne bwe bamukebera tabeera nako.

Omwana wange bwe yaweza omwezi gumu nga mmuzadde naddayo mu ddwaaliro n’agemebwa akawuka kano era namuyonsa bulungi nga nakati akyayonka wabula takalina.

Eby’okwegatta ne baze nabivaako kuba saagala kumusiiga kawuka kano naye tanninaako buzibu. Mbadde mugonvu ennaku zino nga ntuuyana ekisusse wabula sikyusa byakulya mu ngeri yonna okuggyako okunywa ennyo,” Namukwaya bwe yamalirizza.

Obulwadde bw’ekibumba bumu ku bweraliikirizza abantu ennaku zino olw’engeri gye bukwatamu ate n’okuba nga tebulina ddagala.

Buno abasawo babuyita bwa Hepatitis B. Dr. Frank Kakuba, ow’eddwaaliro ly’e Mengo yannyonnyodde nti, buno si bulwadde bwabulijjo obulaga obubonero ng'omusujja, wabula bulwadde obulya ekibumba ne kituuka nga tekikyasobola kutuukiriza mulimu gwakyo ogw’okunuuna obutwa mu mubiri.

EKIRWAZA HEPATITIS ‘Hepatitis’ kawuka akaleeta obulwadde obukosa ekibumba. Ekibumba ky’ekitundu mu mubiri ekisengejja buli kintu omuntu ky’alya oba okunywa era bwe kirwala kiba kizibu okujjajanjaba.

Ekibumba kirina endwadde okuli; Hepatitis B, kookolo w’ekibumba n’endala nnyingi, wabula zino zonna zirwawo okulaga obubonero era we bulabikira ekibumba kibeera kinafuye.

abakwati bwa hepatitis B 1 Abantu 95 ku 100 abafuna Hepatitis B bawona mu myezi mukaaga nga tebalina ddagala lye bamize kuba abaserikale b’omubiri babeera n’obusobozi okulwanyisa akawuka kano ne katakosa akafunye.

Wabula abaserikale b’omubiri gwo bwe babeera banafu naddala mu bantu abatawaanyizibwa endwadde ez’amaanyi kizibu okuwona.

2 Waliwo ababufuna ne beekebeza era ne basukka emyezi mukaaga nga babulina wabula ne butabalwaza era ne batamira ddagala. Kino tekibaggyaako kuba na bulwadde era buli lwe bajja okwekebeza bategeezebwa nti akawuka bakalina wabula nga tekakula, tekakendeera wabula nag abasobola okusiiga omuntu omulala atakalina.

Bano tebakkirizibwa kugaba musaayi kuba akawuka kasobola okukwata oyo gwe bagutaddeko.

Ku bantu bano akawuka ka Hepatitis B kattako 1 yekka ku buli 100, era bano be balina okumira eddagala. Abalala 99 ku buli 100 basigala nako nga tekabakosa obulamu bwabwe bwonna.

OTANDIKA DDI OKUMIRA EDDAGALA? Dr. Kakuba yannyonnyodde nti, okukuzuula n’akawuka ka Hepatitis tekitegeeza kutandikirawo kumira ddagala okutuusa ng’omusawo akwekebezze n’akulagira okulitandika.

1 Osooka okukeberebwa okulaba oba olina akawuka ka Hepatitis oba nedda, oba wakalwalako oba nedda n’okulaba enkola y’ekibumba n’embeera nwe kiri okuzuula oba kiramu oba kirwadde.

2 Okukebera okw’okubiri kubeera kwa kubala bungi bwa kawuka kano mu mubiri, okulaba oba keeyongerako mu bungi oba nedda. Kino kikolebwa mu malwaliro amanene aga Gavumenti.

3 Azuuliddwa n’akawuka era nga mulwadde wa kibumba aweebwa eddagala ly’amira obulamu bwe bwonna. Lino terimiribwa buli muntu atannakeberebwa na kukakasibwa nti alyetaaga.

Mu bantu abatono ennyo bannamukisa, bayinza okumira eddagala akawuka ne kakona nga tekakyakula, naye ng’okukakasa kino abasawo balina okukukebera buli luvannyuma lwa myezi mukaaga. Obuzibu obuliwo, abantu abasinga bazuulibwa n’obulwadde buno ng’ekibumba kimaze okuliibwa ng’ekisigadde kussibwa ku ddagala ate nga bw’ojjanjabwa ne mu ddwaaliro ly’abalina kookolo kuba obeera ofunye kookolo w’ekibumba.

BUKWATA BUTYA? ‘Hepatitis B’ bukwatira mu makubo ge gamu ng’akawuka ka siriimu wabula enjawulo eriwo nti buno bukwata nnyo ate mangu okusinga ku kawuka ka siriimu.

1 Hepatitis ayita mu mazzi agava mu mubiri omuli n’entuuyo. 2 Ssinga omuntu alina akawuka yeegatta n’atakalina nga tebakozesezza kondomu akamusiiga. 3 Omuntu okussibwako omusaayi gw’oyo akalina oba omusaayi gw’oyo akalina okwetabula n’ogugwe ng’abadde n’ekiwundu.

4 Omwana asobola okukafuna okuva ku nnyina ng’azaalibwa ssinga tafiibwako mangu musawo mu kusala ekirira.

5 Maama akalina bw’ayonsa omwana alina amabwa mu kamwa akamusiiga.

6 Omuntu alina obulwadde buno bwanywegera atabulina ng’alina ebbwa mu kamwa akamusiiga.

7 Omusawo azaalisa alina okwegendereza ennyo kuba akwata mu musaayi era kyangu okufuna akawuka kano. GENDERERA: Ssinga omuntu alina akawuka ka hepatitis atuuyana ng’akuliraanye ate ng’olina ebbwa entuuyo ze bwe zikugendako osobola okufuna obulwadde buno. Abantu abasoba mu kawumbi be balina obulwadde buno mu nsi yonna. kw ’olabira alwadde Hepatitis B Ku ntandikwa tebulaga bubonero bwonna. uba ategeezeza nti obulwadde buno tebulina bubonero bwe buleeta. Wabula bulabika ng’ekibumba kitandise okuliibwa akawuka, buno kuliko:

Amaaso okufuuka aga kyenvu

Okutandika okuzimba olubuto n’ebigere (olubuto luusi lubaamu mazzi). l Okulunguula mu maaso.

Okuvaamu omusaayi omungi ne bw’ofuna akabwa akatono naddala ng’obadde tokifuna nga mu balina obuzibu bw’omusaayi okukwata.

BY’OBA WEEWALA NG’OLINA HEPATITIS l Togaba musaayi.

Weewale okulya omunnyo omuka n’omubisi kuba gunafuya ekibumba.

Tonywa mwenge ogw’ekika kyonna l Tomala gamira ddagala eritakuweereddwa musawo mukugu okwewala okwongera okukosa ekibumba.
BY’OLINA OKULYA omulwadde wa hepatitis b wa ddembe okulya buli kika kya mmere naddala ezimba omubiri nga: amagi, amata, ennyama, ebijanjalo, mukene, n’endala egwa mu kkowe eryo okukuza ekibumba.
 
OKUGEMA Dr. Kakuba yagambye nti obulwadde buno bugemebwa mu bantu abatalina kawuka bokka. Bano bakubwa eddagala eritalina buzibu bwonna bwe kukutuusaako wabula nga kakutangira okukwatibwa akawuka kano. Kino kikolebwa ku bantu bonna okuva ku baana ab’emyezi mukaaga n’abakulu.
 
AMALWALIRO AGAjjaNJABA HEPATiTIS B Okusiinzira ku mwogezi wa misititule y’ebyobulamu, Vivian Nakireka Sserwanja, amalwaliro gonna aga Gavumenti mu ggwanga gakebera obulwadde bwa Hepatitis B n’okubujjanjaba ne Mulago mu cancer institute Amalala awakeberebwa n’okujjanjaba:
 
Norvik Hospital ku Bombo Road mu Kampala, Lubaga, Mengo, Nsambya, Kibuli, Victoria Hospital mu Kampala n’amalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...