TOP

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2017

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye

Lip1 703x422

OFUNA obuzibu mu kutambula ng’oli lubuto nga kiva ku bulumi mu nnyingo? Manya mangu ekivaako obulumi obwo ne ky’osobola okukikolera. Dr. Farouk Muyingo, ow’eddwaaliro ly’e Mpigi yagambye nti waliwo ebintu ebivaako abakyala abali embuto okulumwa mu nnyingo eby’enjawulo omuli:

1 Omukyala okweyongera obuzito. Omwana ayinza okuba nga munene obuzito bwe ne butuula ku nnyingo era bwe zitendewalirwa ng’ofuna obulumi.

2 Amazzi okweyongera obungi mu nnyingo.

3 Okuyimirira okumala ebbanga eddene.

4 Okutambula olugendo oluwanvu.

5 Okusitula ebintu ebizito. 6Waliwo dduyiro ow’amaanyi ayinza okuvaako kino gw’osaana okwewala. Laba omusawo ssinga obulumi buyitirira okumala ebbanga eddene. Obujjanjabi l Okuwanika amagulu n’okugagolola.

l Okukola dduyiro omusaamusaamu akuyamba okugumya ennyingo n’okukkakkanya obulumi ate n’okwewala ow’amaanyi ayinza okwongera okukukosa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...