TOP

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2017

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

Jab2 703x422

Omusajja ng’anoga omujaaja.

Tuzze tusoma ku migaso egiri mu byokulya eby’enjawulo era nkakasa nti bangi ku ffe obulamu bukyuse. Tokyasobola kumala gayita ku byokulya nga ekisubi, okra, kaama, ekinzaali ekiganda n’ebintu ebirala kubanga mutegedde nti bikola ng’eddagala ku ndwadde eziwera era ne biyamba n’okugema endwadde. Leero tugenda kulaba emigaso gy’omujaaja ku bulamu bw’omuntu.

Abantu waakiri 60 ku 100 bakozesa omujaaja naddala ku caayi gwe banywa. Bano essira basinga kulissa ku kaloosa akava mu bikoola nga tebamanyi nti bali mu kwejjanjaba n’okugema endwadde ez’enjawulo. Mu bitundu gye guli omungi ogusanga mu nsiko ne ku ttale.

Abalaalo bamanyi n’okugugaaya nga bwe bamira amalusu era omugaso bagufuna bulungi Erinnya ly’omujaaja lyakwata mu bitundu bingi, ennimi nnyingi era ziguyita mujaaja kyokka mu lungereza guyitibwa ‘sweet basil’. Omujaaja ng’oggyeeko okuwoomesa caayi ku Biva Organic twakizuula nti ddagala ku ndwadde eziwera. Osobola okukola amajaani nga tekikwetagisa kugenda ku kati kunoga.

Wabula ebikoola obutaggwaamu kirungo eky’omugaso olina kubikaliza mu kisiikirize oluvannyuma n’obisa okufunamu ensaano. Amajaani gano tugalina ne ku Biva Organic. Emigaso 1. Omujaaja guyamba mu kugonza emmere mu lubuto. Olubuto ne bwe luba lukutumbidde oba ng’olina ekizibu ky’okuyisa omukka oguwunya bw’onywa ku mujaaja olubuto lujja kutereera.

2. Omujaaja era guyamba okukkakkanya ebirungo by’emmere mu mubiri n’otafuna buzibu. Okugeza guyamba okukkakkanya asidi omungi. 3. Waliwo ababeera n’ekizibu nga buli kiseera owulira ng’oyagala kugenda mmanju. Mu mbeera eno bangi bagamba nti olina enjoka oba enfaana.

Omujaaja guyamba okutta ebiwuka mu lubuto mu bato n’abakulu. Yensonga lwaki abaana bwe bakaaba olubuto ebiseera ebisinga basooka kubawa mujaaja. 4. Omujaaja guyamba n’abalina ekizibu ky’amaaso. Bw’oba walina eriiso eritukula obulungi kyokka nga kati liringa lye baayiwamu omusaayi weekwate omujaaja amaaso gajja kutereera. Oluusi embeera eno eva ku ‘alagye’. Okutereera yenga ebikoola by’omujaaja onaabe mu maaso naye olina okusooka okubiyonja nga tonnatandika kuyenga. Oba oyinza okunoga ebikoola b’obifumbira mu mazzi okumala ebbanga. Amazzi gano osobola okugakozesa okunaba mu maaso, n’okuganywa.

5. Abatawaanyizibwa envumbo mu matu oluusi evaako n’obutawulira bulungi munyiikire okunywa omujaaja. Guyamba n’okunyiga obuzimba mu matu. 6. Omujaaja guyamba ne ku balwadde ba alusa. Okukukolera obulungiogugatta ne kamunye. Ku Biva Organic eddagala lino tulirina.

7. Abakyala abavaamu ekisu naye nga mukakasa nti temulina kirwadde kya UTI ne PID, mufumbe omujaaja mu mazzi ge munaaba mu wiiki emu ojja kuba oteredde. Omujaaja gutta obuwuka obuvaako ekisu. 8. Bw’oba n’amabwa mu kamwa gaaya ebikoola oba okunywa caayi okuli omujaaja omuka ojja kutereera. 9. Omujaaja gulimu ebirungo ekyagazisa okulya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...