TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira ISO atabukidde poliisi ku bya muninkini wa Kaweesi

Akulira ISO atabukidde poliisi ku bya muninkini wa Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2017

AKULIRA ekitongole ekikessi ekya ISO awanda muliro! Col. Frank Bagyenda Kaka munyiivu olwa poliisi okuyingirira emirimu gyabwe ku nsonga z’omukazi agambibwa okuba ng’alina by’amanyi ku batta Andrew Felix Kaweesi.

Mbabazikaka1 703x422

Mbabazi mu ssaako yafuna ensisi nga Kaweesi bamusse

Bya MUSASI WAFFE

AKULIRA ekitongole ekikessi ekya ISO awanda muliro! Col. Frank Bagyenda Kaka munyiivu olwa poliisi okuyingirira emirimu gyabwe ku nsonga z’omukazi agambibwa okuba ng’alina by’amanyi ku batta Andrew Felix Kaweesi.

Christine Muhoza Mbabazi 38, agambibwa okuba nga yali muninkini wa Kaweesi y’alwanya ebitongole by’ebyokwerinda ebi­biri; Poliisi - eduumirwa Gen. Kale Kayihura ne ISO (Internal Security Organization) ekulirwa Col. Kaka. Waggulu wa ISO waliyo Minisita w’obutebenkevu Lt. Gen. Henry Tumukunde aludde ng’alaga ebituli mu nkola ya poliisi by’agamba nti byetaaga okuziba.

Ensiitaano wakati wa poliisi ne ISO yeeyolese ku Lwakuna lwa wiiki ewedde, poliisi bwe yayungudde abaserikale baayo okununula Mbabazi mu maka g’omukazi ono agali e Lungujja mu Ssendawula Zooni aba ISO mwe bamukuu­midde okumala omwezi mulamba n’ekitundu.

Waaliwo akanyoolagano era aba poliisi eyaabulijjo abaasooka okusindikibwa nga bava ku Old Kampala ne CPS bwe baalemwa ne basindikayo aba Flying Squad nga baduumirwa Herbert Muhangi. Aba ISO okwali n’abajaasi be bakola nabo, baalemesa poliisi era ofiisi ya Pulezidenti n’eyingiramu n’esindika amagye agakuuma Pulezidenti aga SFC (Special Forces Command) ne geddiza ebyokwerinda mu maka ga Mbabazi era ge gakyaliwo.

 

ol aka owa Col. Kaka owa ISO

 

ENGERI ISO GY’ETADDE AKAZITO KU POLIISI

Col. Kaka mu kwogera ne Buke­dde yasoose kulaga butali bumativu ku ngeri poliisi gye yakutte aba ISO n’ebaggalira nga terina misango gy’ebagguddeko.

Abaakwatiddwa be bamu ku babadde bakuumira Mbabazi mu maka ge nga bakulemberwa Ramathan Bukenya. Abaserikale ba Flying Squad be baakutte Bukenya ne banne babiri ne babaggalira ku Old Kampala. Mbabazi abadde akuumibwa abaserikale 10 abaas­indikibwa ISO okutuusa SFC lwe yazze ne bavaawo.

Ensonda mu byokwerinda zaat­egeezezza nti, waabaddewo enkiiko ez’enjawulo ezizze zituula okuva ku Lwokuna akawungeezi ku nsonga z’omukazi Mbabazi era mu zimu ku nkiiko ezo aba ISO baalumi­rizza poliisi okuyingirira emirimu gy’okunoonyereza kwe baabadde banaatera okuggusa.

Poliisi nayo yeerwanyeeko nti ya­koledde mu mateeka okudduukirira omuntu eyabadde amaze okweku­bira enduulu ng’ayita mu mikutu egy’enjawulo. Bukedde ye yasooka okuwandiika eggulire ly’omukazi ono omwezi oguwedde era omu­kazi teyakoma awo n’asaasaanya ne ‘vidiyo’ ku 'WhatsApp', 'Twit­ter' ne 'Facebook' ng’alaajana nti, bamukuumira mu buwambe era ayagala atwalibwe mu kkooti. Poliisi yeesigamye ku bino okunnyonnyola ekyabatutte ewa Mbabazi gye baa­koonaganidde ne ISO buli ludda ne lutuuka okukoocinga emmundu.

Ensonga y’aba ISO abaakwatid­dwa nayo yazze mu ddiiro era ab’ekitongole kya ISO ne bee­wuunya engeri poliisi gy’ekwata abaserikale abaasindikiddwa mu butongole okukola omulimu ogwekuusa ku butebenkevu; ate bwe bakwatibwa ekitongole ekirala ekivunaanyizibwa ku nsonga ze zimu. Ku nkomerero kyasaliddwaa­wo bayimbulwe era ne bayimbulwa nga tewali musango gubaggud­dwaako.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga AIGP Asan Kasingye yagambye nti eby’abantu abaak­watibwa ku by’omukazi Mbabazi talina ky’abimanyiiko. Lwe baak­watibwa, Muhangi akulira Flying Squad yategeeza Bukedde nti baali babanoonyerezaako ku ngeri gye baagenda ewa Mbabazi kubanga omukazi yali amaze okulaajana ng’asaba obuyambi.

AKULIRA ISO AYOGEDDE KU BY’OMUKAZI MBABAZI

Col. Kaka (Director ISO) yagam­bye nti mu kusindika abaserikale ewa Mbabazi tebaakikolera mu nsobi; wabula baamala kunoonyer­eza era bye baazuula byesigika.

Wadde yagaanye okunnyon­nyola ku bye baazuula; kyokka yategeezezza nti omukazi oyo alina bingi ebisobola okuyambako mu kuzuula abo bonna abeenyigira mu kutemula Kaweesi.

Yagasseeko nti poliisi erina okunnyonnyola ekigendererwa kyayo mu nsonga zino ne kwe yasinziira okukwata abaserikale ba ISO abaali ku mirimu emitongole.

Kinajjukirwa nti Kaweesi bwe yakubwa amasasi n’attibwa nga March 17, omwaka guno; ebiton­gole eby’enjawulo okwali poliisi, CMI, ISO n’ebirala byayingira mu kunoonyereza kyokka era okukoonagana kwatandikirawo nga kigambibwa nti ebitongole ebimu byali byagala poliisi ereme kukulemberamu kubanga omuntu eyattibwa yali mukungu waayo ate nga mu kunoonyereza okwabulijjo, omuntu bw’attibwa, abamubadde ku lusegere bakubwamu ttooci.

Abantu 23 be baasunsulwa ne batwalibwa mu kkooti ku by’okutta Kaweesi wabula baatulugunyizib­wa nnyo era wiiki ewedde kkooti yalagidde baliyirirwe obukadde 80 buli omu; bannamateeka kye baayogeddeko ng’ekiyinza oku­kosa obujulizi bwe baabaggyamu ne butunuulirwa ng’obwaweebwa okwetaasa ku kutulugunyizibwa okusukkiridde. Obumu ku bujulizi aba ISO bwe bagamba Mbabazi bw’alina bwekuusa ku lukwe olwa­kolebwa okukuba Kaweesi amasasi emisana ttuku.

Baafuna amawulire nti olukwe Mbabazi yalulimu era yaluyisa mu Geoffrey Mambewa eyali ddereeva wa Kaweesi. Eyabawa amawu­lire yagattako nti Mbabazi yali aweereddwa obukadde 200 oku­lukira Kaweesi era nti yali asuubi­zza Mambewa ettu ery’amaanyi. Bino byonna Mbabazi mu kwogera ne Bukedde yabisambazze n’agamba nti bimuyungiddwaako aba ISO olw’ebigendererwa by­abwe by’atamanyi.

Eyawa ISO amawulire yagigat­tirako nti ddereeva wa Kaweesi mu kuyingira ddiiru teyamanya nti naye yali waakuttibwa era baamu­gamba nti kimu nti beetaaga Kaweesi yekka ne bamugamba nti, bamwagalako kimu kubalaga mataala agakakasa nti muka­maawe mu mmotoka mw’ali; ebi­rala abibalekere.

Emmotoka mwe battira Kaweesi UP 4778 yasangibwa amataala gaaka; naye tekimanyiddwa oba ddereeva yagateekako mu bugen­derevu oba gaagendako mu bu­tanwa mu kagugumuko akaaliwo nga bonna abaali mu mmotoka babakuba amasasi.

ISO kino yakigatta n’engeri emmotoka gye yasangibwa ng’esimbiddwa mu kkubo eteredde awatali wadde emipiira okukya­mamu ebbali; n’eraba ng’ekya ddereeva kiyinza okubaamu akanigguusa n’esalawo eyongere okulondoola.

Wabula Mbabazi byonna yabisambiridde n’agamba nti yeekanga nnyo nga bamututte mu wooteeri Col. Kaka ng’amutumizza; ne baleeta omusajja eyeeyita owa bodaboda eyavuga abatta Kaweesi n’atandika okulumiriza omukyala ono. Mbabazi yagambye nti owa bodaboda oyo tamulabangako era ne bye yali attottola nga biwulikiki­ra ddala nti bipange okussa abantu abamu mu kattu ku by’okutta Kaweesi.

Obutakwatagana mu biton­gole by’ebyokwerinda bwasooka kweyoleka mu May 2017 eyali munnamagye Lt. Godfrey Gal­abuzi Musisi eyakwatibwako ku by’okutta Kaweesi kyokka ne bamuyimbula nga tagguddwaako musango; bwe yatwala omusango mu kkooti ng’avunaana aba poliisi okumutulugunya nga bamukaka alumirize Minisita Tumukunde nti yamuwa akawumbi kalamba oku­kola olukwe olwatta Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...