TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda erumbiddwa obulwadde obuleetebwa obuwundo

Uganda erumbiddwa obulwadde obuleetebwa obuwundo

By Muwanga Kakooza

Added 20th October 2017

Uganda erumbiddwa obulwadde obuleetebwa obuwundo

Ac1 703x422

Minisita w'ebyobulamu Ruth Aceng

MINISITULE y’ebyobulamu erangiridde nti Uganda erumbiddwa omusujja ogw’obulabe ogusasanyizibwa obuwundo n’ebinyira  ogwakatta omuntu omu.

Omusujja guno ogumanyiddwa nga ‘Marburg Virus Disease’ gusobola okukwata omuntu nga guyita mu musaayi, omusulo, embitambi y’omuntu era gusobola okuva mu bisolo ebyefananyiriza omuntu ng’enkima n’ebisodde.

Minsita w’ebyobulamu Dr. Ruth Aceng ategeezezza mu kiwandiiko nti obubonero bw’obulwadde buno kuliko okusesema omusaayi,okuwulira obulumi mu nnyingo,okuva omusaayi mu nyindo,amaaso,ekibuno,amatu,emabega ne  ku lususu.

Ebitundu ebisoose okukosebwa biri mu buvanjuba bwa Uganda mu disitulikiti y’e Kween omukazi ow’emyaka 50 gye yafudde oluvannyuma lw’okujjanjaba ow’oganda lwe eyafudde ng’ava okuyigga ensolo z’omu nsiko.

Obulwadde buno buletebwa akawuka akasirikutu akasangibwa mu buwundo n’ebinyira n’ebisolo ebyefanaanyiriza omuntu era butta abantu kyokka nga bwe bulabukirirwa amangu asobola okujjanjabwa n’awona

Minisitule etaddewo ebifo awasobola okujjajjabirwa abalumbiddwa obulwadde buno ku ddwaliro e Kapchorwa era egenda kutendeka abasawo bonna ku bikwata ku bulwadde buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi

Fish0webuse 220x290

Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde...

Abavubi batabukidde ababaka baabwe abataddayo kubategeeza nsonga zibaluma eziteesebwako mu Palamneti ng'ate tebakkaanya...

Rab2 220x290

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura...

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura ku mmundu za Kitatta