TOP

Museveni alabudde abajaasi be ku kibba ttaka

By Muwanga Kakooza

Added 20th October 2017

Museveni alabudde abajaasi be ku kibba ttaka

Sev2 703x422

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Museveni alabudde bannamagye okukomya ebikolwa by’okubba ettaka ly’abantu n’agamba nti gw’anaakwatako engalo kajja kumujjuutuka.

‘’Mundoopere abamagye bonna abeenyigidde mu kibba ttaka.Gwe naakwatako engalo ajja kusibira mu kkomera. Sifunanga  lipooti n’emu mu buwandiike kuva wa mubaka wa palamenti yenna , ssentebe wa LC3 Oba LC5 ku banamagye babba ttaka. Bwe babaayo mubandoopere mbalage enkola’’ Pulezidenti Museveni nga ye muduumizi w’amagye ow’okuntikko bwe yagambye.

Yabadde ayogerera ku leediyo ya Mega FM e Gulu ku kawayiro k’okukyusa Konsityusoni okuwa gavumenti obuyinza okukozesa ettaka ly’omuntu okukola ebikulakulanya egwanga nannyini lyo ne bw’aba tamatidde na ssente zimuwereddwa.

Yannyonnyodde nti wagenda kubaawo obukiiko obutawulula enkayana z’amattaka nga bannyini lyo bwe baba tebamatidde na nsimbi zibaweereddwa baddembe okwemulugunya babongere ssente endala kasita kizuulibwa ng’okwemulugunya kwabwe kulimu eggumba. Kyokka nga kino tekisaanidde kuzing’amya mirimu gya gavumenti.

Yanenyezza leediyo za FM olw’okusaasanya obulimba okuva mu bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya nti gavumenti etegeka kubba ttaka lyabwe ng’eyita mu kawaayiro kano ekitali kituufu.

N’agamba nti Uganda yali mu mbeera mbi ne banne ne beeyambisa ebiseera by’obuvubuka bwabwe okugirwanirira edde engulu n’ategeeza nti bwe wabaawo abaagala okuddamu okuginyikka ye tajja kubaguminkiriza.

Yagambye nti Konsityusoni z’amawanga ageetolodde Uganda gawa gavumenti obwanannyini ku ttaka kyokka mu Uganda ettaka ly’abantu nga gavumenti bw’eba erina ky’eyagala okukolerako ng’okuyisaako enguudo, amasanyalaze, amazzi n’ebirala erina okubaliyirira era kino tekigenda kuvaawo.

Yategeezezza nti NRM bwe yajja mu buyinza ettaka yazzaawo obwanannyini bw’ettaka kyokka n’ebagaana okumala gagobaganya basenze.Yagambye nti akawayiro akaletebwa tekagenderera kufunira ba yinvesita ttaka wabula ka ttaka lya kuyamba gavumenti kuyissaako 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...

Abazze1 220x290

Omupiira tugutambulize ku mulembe...

ENTEEKATEEKA ez’okugaziya ekisaawe kya Vipers, ekya St. Mary's Stadium ziri mu ggiya.