TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale ba Bryan White bakubye omuvubuka amasasi

Abaserikale ba Bryan White bakubye omuvubuka amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2017

Abaserikale ba Bryan White bakubye omuvubuka amasasi

Lop2 703x422

Ivan Boogere mu ddwaaliro e Mulago gye baamututte okufuna obujjanjabi.

AB’EMMUNDU balumbye omuvubuka Bryan White ‘Bryan Kirumira’ eyeegulidde erinnya mu kumansa ssente bamubbe kyokka abakuumi be ne bakubako omu amasasi. Bryan White baamulumbye mu maka ge e Munyonyo bwe yabadde ava ewa Emmanuel Katongole owa Quality Chemicals ku mukolo.

Agamba nti yayingidde ssaawa 6:00 ogw’ekiro ku Lwokutaano, nti baagenze okuwulira wabweru ng’abantu batambula. Abaserikale be baafulumye wabweru ne balaba abantu nga bali mu kibinja.

Abazigu baalagidde abakuumi ba Bryan okuwanika kyokka bo baayanukuzza masasi. Mu kavuvungano kano, amasasi gaakutte omu ku bazigu eyategeerekese nga Ivan Boogere oluvannyuma eyategeezezza nti akolera mu Kisenyi kyokka nga mutuuze w’e Katwe. Ono abakuumi ba Bryan baamusanze wabweru wa kikomera ng’amaanyi gamuweddemu n’akwatibwa.

Bryan agamba nti guno omulundi gwakusatu nga bamulumba, ng’ogwasooka muliraanwa we ye yalaba ab’emmundu mu kikomera. Ogwokubiri, yali akomawo awaka n’alaba mmotoka emugoberera kyokka bwe yayingira mu kikomera ne baweta ne baddayo.

Omulundi ogwokusatu, gwali gwa muvubuka ayitibwa Ashraf Kirabira eyagenda mu mawulire ne yeeyogerako nga bwali muganda wa Bryan era ng’alumiriza nti ono yasuulawo nnyabwe tamulabirira kyokka nga bino byonna byali bya bulimba. Bryan agamba nti bino byonna biguddewo mu bbanga lya wiiki bbiri ekiraga nti waliwo abantu abeefunyiridde ku kumutusaako obulabe, naddala okusanyaawo obulamu bwe, kyokka nga tamanyi kye bamulanga.

Bino we bibeereddewo nga Bryan White yakamala okutalaaga ebitundu bya Makindye, Munyonyo, Salaama, Nateete n’emiriraano nga bw’agabira aba bodaboda ssente. Yakubidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura omulanga okuyamba Bannayuganda abatwala emisango ku poliisi n’abaserikale ababa bagikolako baweebwe obudde n’okuyambibwa banoonyereze okusinga okubatiisatiisa. “Nze essaawa eno ndi mu kutya olw’obulamu bwange kubanga gino emirundi esatu simanyi oba waliyo emirala gye bategese okunnumba.

Obulamu bwange okuva lwe natandika okuyamba abantu buli mu matigga abalaba ssente ze ngabira abantu bannumba nga bannumiriza nti ndi mbega wa Pulezidenti Museveni yankozesa abalala bakikola olw’ennugu yaabwe.” Bryan White bwe yategeezezza.

Omuduumizi wa poliisi y’e Katwe, Frantile Lwamusaayi yagambye nti, omu ku babbi eyakubiddwa amasasi mu ngalo baamututte mu ddwaaliro e Mulago era kw’ono kwe bagenda okutandikira ayogere banne be yabadde nabo. Kyokka Boogere yagaanyi okubaako kyayogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...